TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. yeetaaga bbiriyoni endala 7 okulwanyisa enzige

Gavt. yeetaaga bbiriyoni endala 7 okulwanyisa enzige

Added 12th February 2020

GAVUMENTI etegeezezza nga bwe yeetaaga bbiriyoni endala musanvu okusobola okunnyikiza okulwanyisa enzige ezeeyongedde okusaasaanira ebitundu by’e Karamoja.

 Omusajja ng’alaga enzige ezisaanyaawo ebimera.

Omusajja ng’alaga enzige ezisaanyaawo ebimera.

Steven Tibeijuka, kaminsona avunaanyizibwa ku birime mu minisitule y'ebyobulimi yategeezezza nti bbiriyoni 15 ezaasoose okuteekebwawo bwamaze dda okukozesebwa ne buggwaawo.

Beeyambisizzaako bbiriyoni 11 okusasula ebbanja eribadde libanjibwa ekitebe ekyateekebwawo mu mawanga ga Afrika okulwanyisa enzige ekya ‘Desert Locust Control Committee' era ab'ekitebe kino basuubirwa okuweereza Uganda ennyonyi esooka egenda okweyambisibwa mu kufuuyira enzige.

Ennyonyi eno esuubirwa okutuuka mu ggwanga akawungeezi k'Olwokubiri yeegatte ku bakugu abali mu ggwanga abaatandise edda okufuuyira.

Ensimbi endala zaakweyambisibwa okugula eddagala erifuuyira, okusasula omugoba w'ennyonyi egenda okweyambisibwa okufuuyira, okusomesa abagenda okuyamba ku bakugu n'okubangula abantu baabulijjo mu bitundu n'ebintu ebirala .

Tibeijuka yagambye nti mu kaweefube w'okulwanyisa enzige bajja kwetaaga ennyonyi ssatu okusobola okumalawo enzige zonna ezaalumbye eggwanga.

Wabula yasambazze ebibadde bitandise okwogerwa abantu abamu naddala bannabyabufuzi nti enzige teziri mu ggwanga n'akkatiriza nti zaayingira ku Ssande nga zaayingirira mu disitulikiti y'e Amudat nga ziva e Kenya.

Mu kiseera kino zimaze okusaasaana mu disitulikiti eziwera ttaano era ssinga tebazanguyira, disitulikiti ezisoba mu asatu zoolekedde okukosebwa okusinziira ku Tibeijuka.

Ekivuddeko enzige zino okusaasaana amangu kwe kuba nga zizze mu biseera bya kyeya era zitambula zinoonya kyakulya.

Okufuuyira enzige kwakutandikira mu distulikiti y'e Katakwi kulyoke kusaasaanire ebitundu ebirala.

Wabula abantu basabiddwa okwewala okulya enzige naddala ezinaaba zimaze okuttibwa kuba zijja kuba zifuuse zaabulabe.

Abantu 2000 be bagenda okutendekebwa okulwanyisa enzige nga kuliko abaserikale ba UPDF, abapoliisi n'abantu abalala.

Mu ngeri y'emu gavumenti yaweerezza baminisita babiri e Kenya bakole okwebuuza okw'enjawulo ku ngeri y'okulwanyisa enzige.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...