TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Lubya mu Buvuma amazzi gabasuza ku bunkenke

Ab'e Lubya mu Buvuma amazzi gabasuza ku bunkenke

Added 12th February 2020

Ab'e Lubya mu Buvuma amazzi gabasuza ku bunkenke

 Omukyala ng'asena amazzi agaali gamulumbye mu nnyumba

Omukyala ng'asena amazzi agaali gamulumbye mu nnyumba

ABATUUZE, abavubi, n'abasuubuzi abawangaalira ku kizinga ky'e Lubya mu Lubya tawuni kkanso mu disitulikiti y'e Buvuma obulamu bubakaluubiridde ng'entabwe eva ku mataba agaabazingako kumpi kwagala kumalawo kizinga kyonna.

Fred Opondo, ssentebe w'omuluka gw'e Lubya yagambye nti amayumba nga 1500 ge gasaliddwako amazzi okuva mu byalo 4 ebiri ku kizinga kino ng'ate abantu abakoseddwa mu mbeera eno bali mu 2500.

Opondo yagambye nti embeera y'eby'obulamu nayo efuuse nzibu mu kadde kano ng'ekizinga olw'obutabaako kaabuyonjo ng'abantu obubi bamala gabumansa nga bwe baagala, mu kiseera kino boolekedde okulumbibwa obulwadde bwa kkolera.

"Mu kiseera kino abantu bangi balumbiddwa obulwadde okuli obw'ekiddukano, omusujja gw'ensiri, abalala bavunze ebigere n'endwadde z'ensusu nnyingi. Eby'embi ," Opondo bwe yannyonnyodde.

Abamu ku batuuze baagambye nti wadde ennyumba zaabwe zijjuddemu amazzi baabulwa ew'okulaga olw'ensonga nti ne mu makanisa abansinga gye basula mu kiseera kino wajjudde.

Omubaka w'e Buvuma mu palamenti Robert Migadde ng'ali ne munne Mathias Kasamba akiika mu palamenti ya East Africa batuuse ku kizinga ky'e Lubya abavubi gye baabayitidde mu mbeera gye bayitamu.

Migadde yagambye nti ebizinga ebisinga obungi mu Buvuma bisaliddwako amazzi nga n'ewamu abamu ku bantu bawaliriziddwa okuvaayo ne beetegula ekibabu.

"Nsaba minisitule y'ebigwa bitalaze ne gavumenti okutwalira awamu okuyingira mu mbeera eno mu ngeri ey'ekikugu sso si ya byabufuzi kuba abantu bali bubi ate nga beetaaga obuyambi obwamangu. Beetaaga emmere, eddagala ku birwadde, amazzi amayonjo n'ebikozesebwa ebirala kuba kati akalwaliro ka Health Centre II akali e Lubya temuli ddagala," bwe yagambye.

Abatuuze bagamba nti ensiri nnyingi nnyo n'amazzi gavunze okumala emyezi ebiri nga tegatambula nga kati gatandise n'okuwunya kuba abatuuze bagasuulamu obubi mbu ne kaabuyonjo tebalina.

Mu bano mwe muli n'abalina zi bbizinensi nga nazo amazzi gaazisalako n'ebintu ebimu ne bifa nga kati tebakola n'eky'okulya bawamma kiwamme.

Basabye abakulembeze ssaako gavumenti okubayamba ebadduukirire okulaba nga bava mu mbeera eno ebamazeeko emirembe.

Phiona Nakaweesi omu ku batuuze yagambye nti n'abaana baabwe wadde okusoma kwatandise tebasobodde kugenda ku masomnero kuba nago gali mu mazzi wakati.

Abamu ku batuuze mu kiseera kino abalina obusobozi basiiba mu ggambuutusi ate nga nazo ziyingiramu amazzi ebigere ne bivunda sso nga n'abo abatalina ggambuutusi balinnya butereevu mu mazzi nabo ebigere bibavunzeeko nga n'abaana abato amazzi bagalinnyamu butereevu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...