TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

Added 12th February 2020

Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

MUNNAMAGYE  Maj Gen. [Rtd] Benon Buta Biraaro, eyavuganyaako ku Bwapulezidenti bw'eggwanga afudde akyalina ekirowooza ky'okufuga ku ggwanga lino.

Maj Gen. Biraaro aludde ng'atawaanyizibwa ekirwadde kya kkansa w'ebyenda abakulira eddwaliro lya Kampala Hospital gye yafiiridde e ggulo mu ssaawa 12:30. Bategezzezza mu bbaluwa gye bafulumiza.

Nti Biraaro yatwalibwa mu ddwaaliro lino nga February,06,2020 ku ssaawa 12: 06 ez'emisana  ng'alumizibwa kkansa w'e kyenda era ne bamuwa obujanjabi okutuusa mukama lweyamujuludde eggulo  ku ssaawa 12:30 ez'amalya g'ekyemisana.

Amangu ddala nga Maj Gen Biraaro nga yaakafa, Bannamagye abakulembeddwaamu Lt. Gen Henry Tumukunde n'eyali minisita w'enguudo; John Nasasira, n'abamu ku  famire bagenze ku ddwaaliro lino ne batwala ambyulensi y'amagye okuva e Bombo ne baggyayo omulambo gwa Biraaro wakati mu bukuumi obw'ekitalo  okugenda okugukolako nga bwe balinda enteekateeka entongole.

Wabula mu maka ga Maj Gen. Biraaro e Munyonyo wasiibye wayiriiddwawo amagye ag'abaserikale nga tebakkiriza mummanawulire yenna kuyingira mu kikomera okutuusa nga gavumenti emalirizza enteekateeka y'okuziika n'efuluma mu butongole.

Ebikwata ku Biraaro

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Isingiro  nga March, 01,1958.

Yasomera Makerere University  gye yafunira diguli ye esooka mu ssomo  ly'eby'obufuzi.  Amangu ago ne yeegatta ku bayekeera ba NRC abaali bakulemberwa Museveni   nga 07th/ June/ 1982.

Abadde ne diguli ey'okubiri okuva mu "Cranfied University Of United Kingdom" e Bungereza mu "Global Strategic Studies.

Mu 1984 yafuulibwa omuwandiisi w'olukiiko olufuzi lwa High Command NRC.

Mu 1986 yafuulibwa omumyuka w'omuwandiisi wa Pulezidenti Museveni mu nsiiko. Olwo n'asindikibwa e Kitigum okutuuka 1987.

Oluvannyuma yasindikibwa e Kyankwazi ng'omumyuka w'akulira ettendekero lya NRC .

Eno gye yava n'atwalibwa okuduumira ekibinja ky'e 97th, mu Eastern Region. Gye yava okufuulibwa aduumira poliisi y'amagye.

Mu 1998 yasindikibwa mu DRC e Congo,  okuduumira eggye erizza emirembe n'okugoba abayeekera bakyewaggula Kony.  

alt=''

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...