
Henry Tumutungi 33, abadde omuvuzi wa boodabooda ku siteegi ya Kyengera Nabaziza mu Kyengera Town council ye yafiiridde mu kaddukulu ka poliisi ye Nabaziza ku Lwokusatu.
Deous Asiimwe mulirwana wa Tumutungi yategeezezza nti omugenzi yasoose kulwanagana ne mukaziwe Fabias Arinaitwe mu kiro nga yeyaleese abasirikale abatutte bba mu kaddukulu mwe yafiiridde.
Kigambibwa nti Tumutungi poliisi okumukwata yamusanze mu makage e Nabaziza ku ssaaw 11:00 ez'okumakya ne mutwala nti ku ssaawa 12:00 ez'okumakya bafumye amawulire nga poliisi ebategeeza nga bwe yabadde afiiridde mu kaduukulu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirano, Luke Oweyesigyire yategeezezza nti omugenzi abadde n'obutakkaanya ne mukazi we nga babadde balina n'emisango emikadde ku poliisi eno.