TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr Hamza agambye enkya teri kukwata ku mulwadde yenna agenda kubeera ku Africana mu kivvulu Sweetheart we Rema

Dr Hamza agambye enkya teri kukwata ku mulwadde yenna agenda kubeera ku Africana mu kivvulu Sweetheart we Rema

Added 13th February 2020

Dr Hamza agambye enkya teri kukwata ku mulwadde yenna agenda kubeera ku Africana mu kivvulu kya "Swthrt" we Rema

 Rema Namakula n'omwami we Dr Hamza

Rema Namakula n'omwami we Dr Hamza

Dr. HAMZA Sebunnya awera kukyekola ne mukaziwe Rema Namakula ku lw'abaagalana.

Hamza agamba nti olunaku lw'enkya tagenda kukuba muntu yenna mpiso mu ddwaliro gy'akolera n'abakozi bonna abalagidde bawummule kubanga olunaku yaluwadde Rema.

Hamza abadde ne Rema ku Hotel Afrikana beetegekera ekivvulu kyabwe agambye nti naye agenda kuyimba ezimu ku nyimba za mukyala we oyo bwe zinaamulema okuyimba ku sitegi olw'obutazeekakasa nyo wakiri anaazimuyimbira nga bali bokka.

Anokoddeyo oluyimba lwa Balitukululira ku kaliba lw'agambye nti yagenda okulaba Rema mu bbanga lye yagaanye okwogera ng'oluyimba olwo yalwagala dda era mukyalawe alumuyimbiramu n'awaka.

Agasseeko nti mu by'obugagga by'alina ku nsi, n'ebikulu by'atuseeko ku myaka gye, eky'okusisinkana Rema ate n'amusaba omukwano ate n'akkiririzaawo nga teyekozezza ng'abakyala abalala ky'ekikyasinze okumusanyusa era Rema amutwala nga kyabugagga era ly'essanyu lye.

Rema agambye nti okuva lwe yafuna Hamza, yatereera ebirowoozo ne bikungaana kati ne byonna by'akola abitegeera tali nga luli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo