TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bw'essasi eryatta Akena bwongedde okuluma Kanyamunyu

Obujulizi bw'essasi eryatta Akena bwongedde okuluma Kanyamunyu

Added 15th February 2020

OMUKUGU mu by’emmundu alaze kkooti ekika ky’emmundu n’essasi eryakozesebwa okutta omugenzi Kenneth Akena bwe yabadde awa obujulizi ku Mathew Kanyamunyu agambibwa okukola ettemu lino.

 Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari nga bali mu kkooti.

Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari nga bali mu kkooti.

Kanyamunyu avunaanibwa ne muganzi we Cynthia Munwangari okutta Akena. Oludda oluwaabi lwesigamye ku bujulizi obugamba nti baamukuba essasi mu lubuto eryamutta oluvannyuma lw'okukalabula mmotoka yaabwe mu bitundu by'e Lugogo. Ettemu lino lyaliwo nga Novermber 12, 2016.

Robin Kirinya okuva mu labalatole ya Gavumenti e Wandegya yabadde mujulizi wa 11 era yazze n'essasi eryalaalira mu mubiri gwa Akena n'aliraga omulamuzi Steven Mubiru ali mu mitambo gy'omusango guno.

Kirinya yagambye nti nga Novermber 18, 2016 poliisi yamuwa ebizibiti omwali essasi eriddugavu abikebere nga yeeyambisa obukugu bwa ssaayansi abannyonnyole ekika ky'emmundu ekyakozesebwa.

Ebirala ebyamuweebwa kuliko engoye; essuuti n'essaati y'emikono emiwanvu ebya bbulu ezigambibwa nti za Kanyamunyu, ekiteeteeyi kya Munwangari ne mmotoka nnamba UAW 548M abikebere oba nga biriko obuganga bw'essasi eryasangibwa mu Akena.

Oluvannyuma lw'okwebejja ebintu bino ebyamuweebwa poliisi, yakola lipooti nga May 31, 2017 eraga essasi eryakubwa Akena. Lipooti yalaze nti essasi lizitowa ggulaamu 2. 58, obuwanvu bwa centimeter 1.22 ng'essasi ery'ekika kino libeera mu basitoola [pistol] oba ekika kya basitoola ekirala ekimanyiddwa nga Revolver egendamu amasasi 8.

Yaggyeewo okubuusabuusa kwonna ku kika ky'emmundu ekyakozesebwa okutta Akena n'agamba nti yali basitoola.

Oludda oluwaabi lugamba nti oluvannyuma lwa Kanyamunyu okuba Akena essasi, emmundu yagikwasa muganda we Joseph Kanyamunyu eyagikweka era n'okutuusa kati poliisi tegifunanga.

Akena yafiira mu ddwaaliro lya Norvick oluvannyuma lw'okulongoosebwa essasi. Abehhanda za Akena baategeeza kkooti nti omugenzi yagenda okufa ng'amazze okulumiriza Kanyamunyu nti y'amusse yadde nga ye Kanyamunyu agamba nti yamutaasa butaasa n'amuddusa mu ddwaaliro oluvannyuma lw'abantu b'ataategeera okumukuba amasasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...