TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala ba Owino basitudde enkundi ku by'okukyalira ensiko

Abakyala ba Owino basitudde enkundi ku by'okukyalira ensiko

Added 15th February 2020

ABAKYALA abakolera mu katale ka St. Balikuddembe baanukudde minisita w'ekikula ky'abantu n'obuwangwa Peace Mutuuzo ku kya Gavumenti okuwera abawala okukyalira ensiko.

 Kabanyana (wakati) omu ku baakulembedde bakyala banne okuvumirira minisita Mutuuzo.

Kabanyana (wakati) omu ku baakulembedde bakyala banne okuvumirira minisita Mutuuzo.

ABAKYALA abakolera mu katale
ka St. Balikuddembe baanukudde
minisita w'ekikula ky'abantu
n'obuwangwa Peace Mutuuzo ku
kya Gavumenti okuwera abawala
okukyalira ensiko.
Bino byabaddewo ku Lwokusatu
ku ssengejjero ly'amawulire erya
Gavumenti (Media Center), Mutuuzo
bwe yasinzidde mu lukiiko
lwa bannamawulire n'ategeeza
nga Gavumenti bw'eteekateeka
okutandika okuvunaana abantu,
abeeyita bassenga n'abamu ku
bametulooni b'amasomero
abali emabega w'okusomesa abayizi
abawala okukyalira ensiko.
Embeera eno ye yatabudde
abakyala mu katale ka St. Balikuddembe
abeegattira mu kibiina kya
‘Tugunjuke Community Initiative'
ekikulemberwa Winnie Kabanda
‘Ssenga Smart' era nga y'omu ku
badayirekita baakyo.
Bawabudde minisita ono
okugenda empola ku nsonga
y'okukyalira ensiko nga bagamba
tekoma kubeera ya nkizo nnyo
mu buwangwa obumu nga Buganda
wabula eyambye n'abamu
ku bakyala okuganja mu bufumbo
olw'okusanyusanga abaami baabwe
abagikkiririzaamu.
"Tusaba minisita okusooka
okumanya obukulu bw'ensonga
y'okukyalira ensiko gy'ayagala
gavumenti ewere kubanga abamu
y'etuyambye okukuuma obufumbo
bwaffe n'okufuna ebirungi omuli
ebyapa by'ettaka ne kapito gwe
tukozesa mu buzinensi zaffe", Aisha
Nakasiita ne Ruth Kabanyana
abatunda emivumba mu zooni ya
Poliisi mu St. Balikuddembe bwe
bategeezezza ku Lwokubiri nga
baanukula ebigambo
Mutuuzo. Abasuubuzi abalala
okwabadde Kabanda ne Jesca Nassali
bajulizza enkola ya bajjajjaabwe
abatakkirizibwanga kuweereza
baami baabwe mmere eteri mbikke
okusobola okugikuumiramu ebbugumu
n'okugitangira obucaafu
okugigendamu.
Basabye minisita okusooka okwebuuza
ku bakulembeze b'ennono
n'obuwangwa obw'enjawulo ku
nsonga eno nga tanneeyongerayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?