TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita adda atya mu by'okukyalira ensiko ng'enzige zirumbye eggwanga....?

Minisita adda atya mu by'okukyalira ensiko ng'enzige zirumbye eggwanga....?

Added 15th February 2020

ENZIGE we zifuukidde enzige, ate Minisita Peace Mutuuzo we yafunidde akadde akanaayiza okukyalira ensiko nga bwe kumenya amateeka.

Okukyalira ensiko yakutadde mu ttuluba limu n'okukecula abawala mu mbugo okukolebwa Abasebei n'ebitundu by'e Karamoja.

E Karamoja eyo ate era enzige ezoogeza abantu ebikikinike, gye zaafubuttukidde nga ziwamattuka mu biwonvu by'e Turkana mu Kenya.

Emmeeme be zitannatundugga olw'enzige, waakiri obasanga basala ntotto ku ssenyiga w'e China (Coronavirus) n'abayizi ba Uganda abasukka mu 100 be geesibidde e Wuhan, obulwadde buno gye bwatandikira era gye busse abantu abasukka mu 2,000.

Mu bizibu eby'amaanyi ebibiri ebitambuza abantu nga beeyogeza bokka, Minisita Mutuuzo mwe yafunidde akaaganya akaggula olutalo ku kukyala ewa Nakakande ng'agamba nti abagendayo bafunirayo obulumi obutaliiko kkomo; nti era n'okusosolwa kw'abakyala abatatyaba nku ziwera, nakwo tebayinza kukukkiriza kugenda mu maaso.

Minisita eddagala ly'alaba liri limu lyokka, kuwera kukyalira nsiko, abakazi bonna benkane, waleme kubaako gwe bayisaamu mimwa nti olusekese lw'enku ze yatyaba lweveera; oba okumukinako nti banne baali batyaba enku, nga ye ali ku mawolu abwebwena.

Eddalu nga linaafung'ana ensi, abakulembeze bava ku nsonga ez'omuzinzi ng'enzige ne Coronavirus ne badda mu busonga obutaliiko yeemulugunya.

Abakazi Minisita be yabadde ayogerako nti b'alwanirira ku kuwera okukyalira ensiko, tebannatwala kwemulugunya wantu wonna! Abasajja nabo bali bbali awo bawaga kimu nti, "Tugeza ne tulaba atugambira ku Nakakande!" Byonna bikuleka weebuuza kimu - Minisita ayamba ani mu kulwanyisa Nakakande!

Eddalu lyeyongera okukula nga Minisita alemeddwa okutaputa obulungi etteeka eriwera okukecula embugo n'ayagala alikozese ku kukyalira ensiko, ng'alinga eyeerabidde nti ebigambo ebibiri "okusalako" "n'okuwanvuya" birina amakulu ga njawulo nnyo, ogageraageranya ku "Nzige" na "Nseenene".

Gavumenti w'erwanira okufuuyira Enzige eddagala ery'omutawaana zife zireme kusaanyaawo birime bya bantu, ate ku Nseenene baba beesunga kukola ssente, n'okweriira ku Kkulunkalu, Kkulumbisi ne Mwebe kawoomera.

Minisita tuyambe oyawule Enseenene ku Nzige, ate mu kifo ky'okumalira amaanyi ku Nseenene kawoomera nnabuka, amaanyi gamalire ku Nzige nnamuzisa ezaalumbye Karamoja awali n'eby'okukecula mu mbugo.

Naye nga lwaki Minisita akkiriza okuwaba bw'atyo nga yeetooloddwa bannamateeka n'abantu abategeera ebyobuwangwa bya buli kitundu!

Abakulembeze bwe banaamalira amaanyi mu busongasonga ne baleka ensonga enkulu ezigulumbya eggwanga, nga bawaddeyo ensi egwire ddala eddalu liri lyennyini ekkankada.

Ate bw'enaagwa eddalu eririko n'envi, ejja kuba tekyataliza minisita ku muntu wa bulijjo. Sibalimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...