TOP

Agambibwa okubba kasooli bamukubye amasasi

Added 17th February 2020

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi agamuttiddewo ng’adduka.

 Abatuuze nga beetegereza omulambo gwa Twesigye eyattiddwa.

Abatuuze nga beetegereza omulambo gwa Twesigye eyattiddwa.

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly'omutuuze ng'abba kasooli ne bamukuba amasasi agamuttiddewo ng'adduka.

Amos Twesigye, omutuuze ku kyalo Ssanga mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikti y'e Wakiso ye yasangiddwa mu nnimiro ya Micheal Sewanyana. Kigambibwa nti baamusanze amaze okumunoga ng'amuteeka mu bukutiya ng'ayambibwako banne basatu wabula bo baasimattuse.

Sewanyana yagambye nti babadde ne munne nga bakuuma kasooli waabwe kwe kuwulira abantu abanuula kasooli ne baddukira ku poliisi. Yagambye nti baabadde banaatera okutuuka ku poliisi kwe kusanga aba LDU ne babannyonnyola embeera eyabaddewo bwe batyo ne 

bagenda okukwata ababbi. Ababbi bwe baawulidde abaserikale ne badduka kwe kubawereekereza amasasi agaakutteko omu.

Abatuuze basanyukidde ekyakoleddwa abaserikale ne bagamba nti obubbi bwafuuka luyimba ng'ate abasinga okubatigomya baana ba ku kyalo.

Maama wa Twesigye, Peace Rwamuccungulu ne mukyala we, Sharon Kobusingye bazze okulaba omuntu waabwe attiddwa kyokka baagambye nti nabo babadde tebamanyi nti Twesigye y'omu ku babadde batigomya ekyalo.

Ssentebe w'ekyalo kino, Don Katende yagambye nti babadde baakamugoba ku kyalo ng'atigomya abatuuze wabula mukama we, n'amwegayirira abeere ku kyalo kyokka n'amulabula okukomya obubbi.

Akulira enkambi y'amagye e Kawempe, LT. Col. Mohammad Ondoga yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n'ekikwekweto eky'okunoonya buli eyeenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Yasabye abatuuze okukola basobole okwebeezaawo n'asaba abazadde okubuulirira abaana baabwe okwewala ebyatuuse ku Twesigye.

Poliisi y'e Matugga yazze n'etwala omulambo mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...