TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bayisizza bajeti ya bukadde 200 okuziika maama w'omugagga

Bayisizza bajeti ya bukadde 200 okuziika maama w'omugagga

Added 17th February 2020

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa ewa Kisekka era bagagga banne ku kakiiko akategesi ne bayisa ensimbi obukadde 200 okukola ku kuziika.

 Omugenzi Ndagire.

Omugenzi Ndagire.

Omugenzi Malita Ndagire yayabise omusuwa ogutambuza omusaayi okuva ku mutwe okugutwala mu mutima. Yafiiridde ku Case Hospital ku Lwokutaano ku makya.

Olukiiko olukola ku kuziika lutuulako abo bokka abalina ebizimbe n'amaduuka agasuubuza mu Kikuubo, Nabugabo, Shauriyaako n'abatuusa ebyamaguzi mu ggwanga.

Abagagga okuli Vincent Kagambo, Hajji Ssemakula, Ronald Kirumira n'abalala be baabadde mu mitambo gy'okukola embalirira eno.

Olwawulidde nti Kayongo omukulembeze mu bibiina eby'enjawulo omwegattira abasuuubuzi afiiriddwa, ne beeyiwa ku wooteeri ye we batuuza enkiiko Kayongo ne muganda we Isaac Nsereko naye omugagga w'e Bugoloobi , baasazeewo omugenzi bamutereke nga bwe bateekateeka n'okulinda baganda baabwe abali mu Amerika.

Bakkiriziganyizza okumuziika ku Lwomukaaga nga February 22 omwaka guno.

Kayongo yagambye nti baategese okusaba okw'enjawulo mu Kampala okugenda okubeera mu kkanisa ya St. Stephen's Church e Kabowa ku ssaawa 6:00 ez'emisana ku Lwokuna nga February 20, 2020.

Oluvannyuma omugenzi ajja kutwalibwa mu maka ge agasangibwa ku kyalo Buyamba e Rakai mu Kkooki nayo gye bategese okusaba okw'enjawulo .

Kayongo ali ku lukiiko olukola ku by'ensimbi mu bwakamuswaga bwa Kkooki era abakungu bonna basuubirwa ku mikolo gy'okuwerekera omugenzi Ndagire. Olumbe lukumiddwa mu maka ga muganda wa Kayongo, Isaac Nsereko e Bugoloobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...