TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani w'akulira ekitongole ekikkessi bamusibye emyaka 32

Mutabani w'akulira ekitongole ekikkessi bamusibye emyaka 32

Added 18th February 2020

BRIAN Bagyenda mutabani w’akulira ekitongole ekikkkesi ekya ISO, asibiddwa emyaka 32 lwa kutta muganzi we abehhanda z’omugenzi ne bakukkulumira Col. Kaka Bagyenda olw’obutabeetondera olw’ebikolwa bya mutabani we.

 Brian, (wakati) ne Bainomugisha (ku kkono) nga bava mu kkooti.

Brian, (wakati) ne Bainomugisha (ku kkono) nga bava mu kkooti.

Bagyenda yatta Enid Twijukye eyali omuyizi e Ndejje yunivasite omulambo gwe n'agusuula e Namanve. Yaayambibwako mikwano gye, Innocent Bainomugisha ne Vicent Rwahirwe.

Okumutta yasooka kukebera ssimu ye nga mulimu obubaka bw'omukwano okuva ew'omusajja omulala.

Bagyenda yayita mikwano gye ne bateeka Twijukye ku buliri ne bamutuga. Mu kwewozaako abadde agamba nti alina ekikyamu ku mutwe era kino kye kyamuviirako okumutta nga tategedde.

Yagamba nti yali mu ddwaaliro lya batabufu b'emitwe e Butabika ng'ajjanjabibwa obulwadde bw'okwennyamira n'okweraliikirira ekisusse (depression) okuva nga November 4, 2016 okutuuka nga November 12, 2016 kyokka n'atta Twijukye nga January 4, 2017 nga tannatereera bulungi.

Omulamuzi Richard Kazibwe Kawumi yagambye nti engeri Bagyenda gye yattamu Twijukye eraga nti yali ategeera bulungi. Kigambibwa nti yasooka kulagira yaaya ave awaka era n'amutuma mu katale e Kaleerwe.

Wano we yaleetera Twijukye mu nnyumba ye n'aggala entimbe z'omu madirisa okuziyiza ab'ebweru okulaba ekigenda mu maaso, n'atumbula leediyo abantu baleme kuwulira kiri munda, n'ayiita mikwano gye bajje bamuttireko ate oluvannyuma n'avuga omulambo n'agusuula.

Omulamuzi Kazibwe yagambye nti bino byonna biraga nti Bagyenda yali ategeera olw'engeri gye yabiteekateeka.

Yagasseeko nti wadde Bagyenda yafunako obuzibu ku mutwe, abasawo baategeeza nti embeera eno tebeera ya lubeerera kyokka yagenda n'okutta muganzi we nga yatereera kubanga waali wayise ennaku 50 bukya ava e Butabika.

Omulamuzi yagambye nti wadde nga Bagyenda yagaana okwewozaako, bw'otunuulira sitetimenti gye yakola ku poliisi ng'annyonnyola engeri gye yattamu muganzi we n'ogigeraageranya n'eya Bainomugisha ne Rwahirwe abaamuyamba okutta, bonna boogera ekintu kye kimu.

Omulamuzi Kazibwe yategeezezza nti abadde waakubasiba emyaka 35 kyokka n'aggyako emyaka 3 gye bamaze ku limanda bwatyo n'abasiba 32.

Ye taata w'omugenzi, Wilson Tibeigaya yagambye nti ekibonerezo kye baawadde Bagyenda kinafu nnyo kubanga yabadde asaana asibwe emyaka egisingawo ku gya banne.

Yakukkulumidde Col. Kaka Bagyenda, taata wa Bagyenda olw'obutavaayo kubeetondera nga mutabani we asse muwala waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...