TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba ne Rema lwa Kenzo

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba ne Rema lwa Kenzo

Added 18th February 2020

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema, Godfrey Kayemba yasoose kukuba ssimu ne yeetonda olw’ebyabadde ku Hotel Africana, Rema bwe yagobye Evan ku siteegi olw’okwogera ku bya Kenzo.

Evans bwe yatuuse e Masaka yagaanyi okulinnya ku siteegi okuyimba ne Rema oluyimba lwabwe olwa ‘Linda' ng'ayagala Rema asooke amwetondere mu lwatu olw'okumuyisaamu amaaso n'okumuswaza eri abawagizi.

"Bwe yabadde annyanjula ku siteegi yabagambye nti. ‘twanirize omusajja gwe baakuba ennyondo 15 ku mutwe era abantu ne bakuba enduulu, nange ne ndowooza nti tuli mu kusaaga kwe kwogera ku linnya lya Kenzo nange mu ngeri ey'okusaaga," Evans bwe yategezezza bwe yabadde e Masaka ku Ssande.

Evans awadde Rema ennaku ttaano zokka okumwetondera oba si kyo wa kukolawo ky'asuubira nti kye kimugwanidde ku bye yamuyisizzaamu.

Evans agamba nti yayisiddwa bubi omuli okumuswaza eri abawagizibe ate nga bingi bye bazze bakola babikkanyako okusanyusa abawagizi baabwe era ye okwogera ku Kenzo yalowoozezza nti bya kusaaga kyokka Rema n'asalawo kumuswazaswaza.

Kino kiddiridde Rema okusika Evans ku siteegi bwe baabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano bwe baabadde bayimba oluyimba lwa ‘Linda'.

Evans yayogedde erinnya lya Eddy Kenzo ng'alaga nga bwe yeeyisizanga obubi ku Rema nga tamuwa budde nga bwe baludde nga babiyimba mu luyimba olwo.

Bwe baabadde e Masaka, Rema oluyimba lwa Linda yaluyimbye yekka era nga we yaluyimbidde nga Evans amaze okuyimba ategeka kudda Kampala.

Wabula Maneja wa Rema, Geoffrey Kayemba agamba nti Evans obutayimba na Rema yabadde mugonvu ekyamulemesezza okuyimba ku ‘layivu' eyeetaaga amaanyi era ye (Evans yayimbidde ku cd).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...