TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba ne Rema lwa Kenzo.

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba ne Rema lwa Kenzo.

Added 18th February 2020

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema, Godfrey Kayemba yasoose kukuba ssimu ne yeetonda olw’ebyabadde ku Hotel Africana, Rema bwe yagobye Evan ku siteegi olw’okwogera ku bya Kenzo.

 Chris Evans ng’ayimba e Masaka.

Chris Evans ng’ayimba e Masaka.

 

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba ne Rema lwa Kenzo.

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema, Godfrey Kayemba yasoose kukuba ssimu ne yeetonda olw'ebyabadde ku Hotel Africana, Rema bwe yagobye Evan ku siteegi olw'okwogera ku bya Kenzo.

Evans bwe yatuuse e Masaka yagaanyi okulinnya ku siteegi okuyimba ne Rema oluyimba lwabwe olwa ‘Linda' ng'ayagala Rema asooke amwetondere mu lwatu olw'okumuyisaamu amaaso n'okumuswaza eri abawagizi.

"Bwe yabadde annyanjula ku siteegi yabagambye nti. ‘twanirize omusajja gwe baakuba ennyondo 15 ku mutwe era abantu ne bakuba enduulu, nange ne ndowooza nti tuli mu kusaaga kwe kwogera ku linnya lya Kenzo nange mu ngeri ey'okusaaga," Evans bwe yategezezza bwe yabadde e Masaka ku Ssande.

 ema ngayimba e asaka Rema ng'ayimba e Masaka.

 

Evans awadde Rema ennaku ttaano zokka okumwetondera oba si kyo wa kukolawo ky'asuubira nti kye kimugwanidde ku bye yamuyisizzaamu.

Evans agamba nti yayisiddwa bubi omuli okumuswaza eri abawagizibe ate nga bingi bye bazze bakola babikkanyako okusanyusa abawagizi baabwe era ye okwogera ku Kenzo yalowoozezza nti bya kusaaga kyokka Rema n'asalawo kumuswazaswaza.

Kino kiddiridde Rema okusika Evans ku siteegi bwe baabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano bwe baabadde bayimba oluyimba lwa ‘Linda'.

Evans yayogedde erinnya lya Eddy Kenzo ng'alaga nga bwe yeeyisizanga obubi ku Rema nga tamuwa budde nga bwe baludde nga babiyimba mu luyimba olwo.

Bwe baabadde e Masaka, Rema oluyimba lwa Linda yaluyimbye yekka era nga we yaluyimbidde nga Evans amaze okuyimba ategeka kudda Kampala.

Wabula Maneja wa Rema, Geoffrey Kayemba agamba nti Evans obutayimba na Rema yabadde mugonvu ekyamulemesezza okuyimba ku ‘layivu' eyeetaaga amaanyi era ye (Evans yayimbidde ku cd).

Nambooze naye alumbye Rema; Mu ngeri y'emu aba Team Rema baddizza omubaka Betty Nambooze (Mukono Municipality) omuliro ku by'okumwogerako ne bba, Dr. Hamza Ssebunnya nga bwe basusse okwekoza mu laavu yaabwe.

Baamusabye asigaze Bakireke ne Rema abeere ne Hamza kubanga abantu abo babiri ba njawulo. Bagamba nti, Rema ne Hamza bakyali bato ekibaawula ku Nambooze ne Bakireke we.

Bino biddiridde Nambooze okuwandiikira Rema ne Hamza omukukku gw'ekiwandiiko ng'anenya naddala Rema ku ngeri gye yeeragamu ne Hamza, engeri gy'amutangiramu abaamawulire ng'ate Rema yennyini y'amuleeta mu bantu, engeri gy'amuwaamu amateeka n'ebirala.

Yategeezezza nti nga ye bw'atatwalangako bba Bakireke mu palamenti wadde ku kadaala bwatyo ne Hamza bw'atalina kudda mu bivvulu bya Rema asigale mu ddwaaliro nga yeekubira mpisoze ne bw'aba azze mu kivvulu, yeetuulire ku bbali asirike.

Ku Africana mu kivvulu ky'abaagalana, Rema we yalagidde ensi nga bw'afiira ku Hamza ne yeekoza bingi ebiraga omukwano n'agamba nti omukwano ogw'ekika ekyo bulijjo agulaba mu ffirimu.

Abantu bangi era baamunyigidde bwe yalemesezza Hamza okwogera eri bannamawulire bwe yamusanze nga baliko bye banyumya n'amulagira badde eka Hamza n'asitukirawo okumuwa ekitiibwa. 

Kino bangi baakirabye ng'olufugirizo lwa Rema olwamulemesa Kenzo.

Rema yabadde anyumya ne Bukedde wiiki ewedde n'agamba nti Hamza tamanyidde baamawulire na bya bwassereebu era ye y'alina okumutaasa ku bantu b'ayinza okwogereramu ebitakwataganye.

Ku bya Nambooze, Kayemba yagambye nti baabiyiseemu ne bazuula nti ayinza okuba ne poyinti omuli okuwa amagezi Hamza ave mu bivvulu n'okwegendereza bannamawulire era bagenda kubisalira amagezi.

Wabula agamba nti Nambooze alina bye yayogedde ng'alabika tamanyi bwe bitambula.

Yawadde eky'okulabirako kya Chris Evans okusaagira ku Kenzo ekyalaze nga Rema amuwakanya okwogera ku Kenzo n'agamba ekyo tekitabula bantu kubanga abayimbi abo bombi ba mukwano ate bazze bakola katemba oyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...