POLIISI ekubye omukka ogubalagala mu bavuzi ba bodaboda mu Kampala okubagumbulula bwe babadde bagezaako okulaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri abasirikale gye babagobaganyamu mu Kampala.
Bano baasoose kusalako ofiisi za RCC wa Kampala nga baagala okumunnyonnyola ku ngeri gye banyigirizibwamu nga bakola emirimu gyabwe n'okwogera ku tteeka erireetebwa ku kugoba bodabboda mu Kampala .
Kyokka bwe balemeddwa okumufuna kwe kusalawo batambule bagende ku Ciy Hall wano poliisi w'ebasaliddeko nga batuuka e Wandegeya ne babakubamu omukka ogubalagala n'okukwata ababadde babakulira wamu ne pikipiki zaabwe.