TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala wa 'Mobile Money' eyabadde awambiddwa azuuse

Omuwala wa 'Mobile Money' eyabadde awambiddwa azuuse

Added 19th February 2020

KU Lwokutaano lwa wiiki ewedde abantu abatannaba kutegeerekeka baawamba omuwala wa ‘Mobile Money’ e Kawanda ku kyalo Kirinnyabigo emisana bwe yali ava ewa nnyina Imelda Nakigozi okulya ekyemisana.

 Jamilah Nankya

Jamilah Nankya

Jamilah Nankya 20, poliisi okuva olwo yatandika okumunoonya era baamuzudde mu bitundu by'e Namulonge ku luguudo lw'e Ziroobwe ng'abaamuwamba baamukuba kalifoomu ne babulawo ne ssente zonna ze yali alina.

NANKYA ALOJJA BWE YAWAMBIBWA

Ku ssaawa 7:00 ez'emisana ku Lwokutaano, abasajja babiri abaali ku boodabooda bajja we nali nkolera ne bansaba mbasindikire ‘airtime' wa 2,000/-. Bwe namala okuzibasindikira bansaba mbalagirire ku kkanisa y'abalokole eri okumpi ne poliisi ye' Kawanda.

Bwe namala okubalagirira omu kwe kuhhamba nti babuulizi ba njiri era nti bandaba nga nnina ebizibu ng'ebisinga biva ku ssente okubula. Abasajja bano nali sibamanyi era omu yantegeeza nti, ssente ze nnina baazisuzizza ku malaalo ekintu ekyantiisa ennyo.

Engeri gye nnali hhenda okulya ekyemisana ewa maama nabasaba bantwaleko ewa maama nfune emmere. Bantegeeza nti, balina okunsabira nange kwe kusooka okugenda ewa maama nteekeyo ssente n'essimu era twagenda ffenna ku kkanisa ne bansabira oluvannyuma ne nkomawo ewa maama.

Nasanga emmere tennaba kuggya ne nzirayo ku mulimu. Nali naakatambulako katono abasajja bennyini be naleka ku kkanisa ne bajja ku ppikippiki ne bahhamba nti bantwaleko. Olwali okutuula ku ppikippiki, ne bahhamba nti, engeri gye twabadde wabweru balina ekkanisa e Maganjo twandibadde tugenda ne bansabira.

Bambuuza ssente ze nalina nga ziri emitwalo 60 ku ssimu ya MTN ne Airtel. Bantegeeza nti, balina okusabira ssente zino nga zibali mu ngalo era twaziggyirako Maganjo.

Baafuna mmotoka ne banvuga nga batandise okunkambuwalira n'empi. Nga wayise akaseera nadda engulu nga gye ndi simanyiiyo nga n'ebintu byange byonna bitwaliddwa. Natambula nga nzenna nkooye ne nsibira ku dduuka abo be bahhamba nti, ndi Maganjo. Omukyala w'edduuka yampa ssente 5,000/- okudda awaka.

Nagenda ewa mukwano gwange e Namulonge ne munnyonnyola ebintuuseeko ne nkozesa essimu ye ne nkubira omukulu w'essomero lya Namulonge SSS n'akubira taata Moses Kulubya eyankima wabula nga nali nfunye omusujja n'entiisa n'antwala ewa ssenga e Lungujja mu Kampala."

MUKAMA WE TAMATIDDE

Mukama we Tobias Musinguzi abiwakanyizza ng'agamba nti yandiba nga yeewamba era ayagala ssente ze n'essimu ebyatwaliddwa. Atwala poliisi y'e Kawanda, Raymond Odongo yategeezezza nti, bakyanoonyereza ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...