TOP

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Added 19th February 2020

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

PULEZIDENTI wa FMU, Dipu Ruparelia akakasizza nti empaka ezitegekeddwa okuggulawo calendar ya FMU mu digi zakubaawo ku Ssande (February 23) nga bwe bagenda mu maaso n'okutabagana n'akawayi akeewaggudde okutondawo ekibiina ekipya ekya Motorcross Association of Uganda (MAU).

Abadde n'abamu ku bakungu ba FMU abaalondeddwa omwezi oguwedde abaakunkumudde Dusman Okee omukono mu kibya.

Dipu agambye nti okulabula kwe yabadde awadde wiiki ewedde nti bonna abeetabye mu mpaka ezaabadde e Busiika tebajja kuddamu kukkirizibwa kwetaba mu zitegekebwa ekibiina kya FMU abimenyewo basooke bateeseganye.

Enteseganya za February 25.

Empaka zino z'ezoluvuga olusoola olwa FMU era omu ku bakulidde okuzitegeka, George Semakula ategeezezza nti balina abavuzi abamala abagenda okuteekawo okuvuganya okumala kyokka nti n'abamu ku baavugidde mu kabiina kaabakyewaggula batandise okusaba okuzeetabamu.

Kino kiddiridde okutegeeza nti omuvuzi yenna aneepena ezitegekeddwa FMU tajja kukkirizibwa kwetaba mu mpaka za ttiimu ya ggwanga.

Semakula ategeezezza nti bagenda kuvuga n'emmotoka z'empaka ng'abavuzi kinoomu beevuganya mu z'akafubutuko nga n'abamu bagenda kwerigira mu bumotoka obubikkule obumanyiddwa nga ‘Buggy'.

Okwewandiisa kusuubirwa eri abavuzi kujja kubeera ku mulyango ng'okuyingira abawagizi bagenda kugula eccupa ya ssooda emu ya 2,000/= zokka.

Dipu ategeezezza nti okusalira ku bawagizi ensimbi kabadde kakodyo kapya okubaddiza n'okubakulisa okulonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...