TOP

Ebya Pallaso okukubwa e South birimu omukazi

Added 20th February 2020

Omuyimbi Pallaso bamuzingizza e South Africa ne bamukuba olw’ebigambibwa nti aliko omuwala eyabadde n’omusajja we gwe yabadde akwana.

 Pallaso n’ebiwundu bye baamutuusizzaako. Yabadde mu ddwaaliro nga bamukolako.

Pallaso n’ebiwundu bye baamutuusizzaako. Yabadde mu ddwaaliro nga bamukolako.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna e Turffontein mu kibuga Johannesburg Pallaso (Pius Mayanja) gye yabadde agenze ne mukwano gwe Denis Kiwunya okucakalako.

Okusinziira ku bifaananyi ebyasaasaanidde ku mikutu gya ‘social media', biraga Pallaso ng'alina ebiwundu ku mikono.

Wabula abamu ku Bannayuganda abali e South Africa bagamba nti Pallaso ne munne baagudde mu kibinja ky'abavubuka abakozi b'effujjo abaabakubye n'okwonoona mmotoka mwe baabadde batambulira nga kirabika baabadde n'ekigendererwa ky'okubabbako ebyabwe. "Kituufu Pallaso baamukubye naye yagudde mu bayaaye be Turffontein.

Akatundu ako kakyamu. Kalimu abavubuka abakozi b'effujjo okwefanaanyirizaako ba Kifeesi b'e Kampala era ne poliisi wano ebamanyi ebatya ne bw'ofunirayo obuzibu n'oloopa ku poliisi tebalina kye bayinza kukuyamba" Ali Ssemambo amanyiddwa nga Ali Mawale bwe yategeezezza.

Bino we byabereddewo nga Pallaso amaze okuyimba ku kivvulu kya valentayini ekyamututte e South Africa.

Kyabaddewo ku Lwokutaano ku Ferndale Recreation Centre e Johannesburg wabula ono yasigaddeyo ng'aliko byamaliriza.

Wakati mu mbeera ey'okutya gye yabaddemu, Pallaso aliko akatambi ke yakutte ng'ayogera ekyamutuuseeko n'okulaajanira abantu okutaasa obulamu bwe kyokka kano ng'oggyeeko okwewanisa abooluganda n'abawagizi be emitima, katabudde abantu abamu ne batuuka n'okugamba nti ono yandiba mu kabadi ng'aliko byapanga sinnakindi okubaako by'abuzaabuza kubanga by'ayogera tebikwatagana.

Ate abalala bagamba nti kirabika aliko vidiyo gy'akwata. Yatandise agamba abantu nti "Munsabire munsabire nnyo buli omu w'ali ansabire kuba ndi mu buzibu bwamaanyi era wano w'endi nneekwese mu galagi ya ssomero.

Nze ne mukwano gwange tugenze mu kifo ekimu ne tugwa mu bantu abeekalaakasa hhenze okulaba nga bansongamu.

Bano bankubye ne bansala ebiso era ssinga sibadde na maanyi nandibadde mufu. Nsobodde okubeesimattulako ne nziruka wabula mu kudduka nga bangoba ngudde mu mmotoka n'entomera.

Nsituseewo wansi ne mbaako mmotoka endala gye mbuukira ng'abasajja bangoba kyokka eno oluggi lugaanyi okweggula ekinyolo ne kikutukako ne nkisigaza mu ngalo.

hhenze okulaba nga waliwo Omunigeria gwe bakubye ali wansi ne mmanya nti kino kye kitta bantu bulijjo kyempulira e South Africa (Xenophobia) naye munsabire wano wendi m

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Omuyimbi Pallaso bamuzingizza
e South Africa ne bamukuba
olw'ebigambibwa nti aliko omuwala
eyabadde n'omusajja we
gwe yabadde akwana.
Bino byabaddewo mu kiro
ekyakeesezza Olwokuna e Turffontein
mu kibuga Johannesburg
Pallaso (Pius Mayanja) gye
yabadde agenze ne mukwano
gwe Denis Kiwunya okucakalako.
Okusinziira ku bifaananyi
ebyasaasaanidde ku mikutu gya
‘social media', biraga Pallaso
ng'alina ebiwundu ku mikono.
Wabula abamu ku Bannayuganda
abali e South
Africa bagamba nti Pallaso ne
munne baagudde mu kibinja
ky'abavubuka abakozi b'effujjo
abaabakubye n'okwonoona
mmotoka mwe baabadde batambulira
nga kirabika baabadde
n'ekigendererwa ky'okubabbako
ebyabwe.
"Kituufu Pallaso baamukubye
naye yagudde mu bayaaye be
Turffontein. Akatundu ako kakyamu.
Kalimu abavubuka abakozi
b'effujjo okwefanaanyirizaako
ba Kifeesi b'e Kampala era ne
poliisi wano ebamanyi ebatya ne
bw'ofunirayo obuzibu n'oloopa
ku poliisi tebalina kye bayinza
kukuyamba" Ali Ssemambo
amanyiddwa nga Ali Mawale bwe
yategeezezza.
Bino we byabereddewo nga
Pallaso amaze okuyimba ku kivvulu
kya valentayini ekyamututte
e South Africa. Kyabaddewo ku
Lwokutaano ku Ferndale Recreation
Centre e Johannesburg
wabula ono yasigaddeyo ng'aliko
byamaliriza.
Wakati mu mbeera
ey'okutya gye
yabaddemu, Pallaso
aliko akatambi ke
yakutte ng'ayogera
ekyamutuuseeko
n'okulaajanira
abantu
okutaasa
obulamu
bwe kyokka kano
ng'oggyeeko okwewanisa abooluganda
n'abawagizi be emitima,
katabudde abantu abamu ne
batuuka n'okugamba nti ono
yandiba mu kabadi ng'aliko
byapanga sinnakindi okubaako
by'abuzaabuza kubanga
by'ayogera tebikwatagana. Ate
abalala bagamba nti kirabika
aliko vidiyo gy'akwata.
Yatandise agamba abantu nti
"Munsabire munsabire nnyo buli
omu w'ali ansabire kuba ndi mu
buzibu bwamaanyi era wano
w'endi nneekwese mu galagi
ya ssomero. Nze ne mukwano
gwange tugenze mu kifo ekimu
ne tugwa mu bantu abeekalaakasa
hhenze okulaba nga
bansongamu.
Bano bankubye ne
bansala ebiso era
ssinga sibadde na
maanyi nandibadde
mufu. Nsobodde
okubeesimattulako
ne nziruka wabula
mu kudduka nga
bangoba ngudde
mu mmotoka
n'entomera.
Nsituseewo
wansi ne mbaako
mmotoka endala
gye mbuukira
ng'abasajja bangoba kyokka eno
oluggi lugaanyi okweggula ekinyolo
ne kikutukako ne nkisigaza
mu ngalo.
hhenze okulaba nga waliwo
Omunigeria gwe bakubye ali
wansi ne mmanya nti kino kye
kitta bantu bulijjo kyempulira
e South Africa (Xenophobia)
naye munsabire wano wendi m

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...