
Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni era agambye nti gavumenti ye esobola okukolagana n'obukulembeze bw'ennono bwonna abakulembeze baabwo bwe baba beeyisa bulungi.
N'agamba nti obukulembeze bw'ennono busobola okubeerawo obulungi mu mulembe oguliwo ensangi zino.
Bino Pulezidenti yabyogedde asisinkanye omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru eyamusisinkanye mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe.
Olukung'ana lw'abakulembeze b'ensikirano okuva mu nsi yonna lujja kutuula e Tooro mu September w'omwaka guno.
Abakulembeze bano kugenda kubaako abakulembeze b'ebyobuwangwa abagenda okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y'okuleeta enkulakulana ezingiramu buli muntu. Lugenda kuddukanyizibwa ku mulamwa ‘obukulembeze bw'ensikirano engeri gye buyinza okuleetawo emirembe n'enkulakulana'
Pulezidenti yasuubizza okukolagana ne Omukama Oyo ku nsonga z'enkulaakulana..
' Sirina buzibu bwonna na kukolagana ne Omukama ku by'enkulakulana,'' bwe yagambye. Mu lukiiko olwetabiddwamu maama w'Omukama Best Kemigisha