
Poliisi ekutte etaayizza abaakoze effujjo n'ekwatako 22 n'ebaggalira.
Enyumba ye bagisanyizzaawo, era bwe bamaze okukoona enyumba n'egwa ku ttaka ne bakkira ebintu ebibaddemu okuli engoye n'ebirala byonna ne babikumako omuliro.
Effujjo lino libadde ku kyalo Katuugo mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga.
Eva Ndibalekera nga ye Nnamwandu w'omugenzi Edward Wabwire eyafa mu 2015 akumiriza mulamu we Jackson Magero okumubonyabonya n'okumukolako effujjo lino lyonna omuli n'okumugoba nga ayagala kutunda ttaka erya yiika 500 omugenzi lyeyaleka.
Ndibalekera agamba nti mulamu we Magero yayungudde ekibinja ky'abayaye abajjidde mu takisi ne batandika okukoonakoona enyumba wabula ye yadduse n'abaana okutaasa obulamu.
Ndibalekera agamba nti teyasigazza wakwegeka luba n'abaana be era awanjagidde abazirakisa okumudduukirira kubanga ettaka bba yalimukwasa mu kiraamo kyeyaleka.
Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera yagambye nti abantu 22 abeetabye mu kukoona enyumba n'okwokya ebintu bya nnamwandu poliisi ebakutte.