
Omubaka wa Buikwe South Ronnie David Mutebi ng’akwasa omu ku balimi ttulakita.
GAVUMENTI edduukiridde ebibiina by'abalimi n'abalunzi e Buikwe bw'ebawadde ttulakita ssatu zibayambe okwongera amaanyi mu kulima n'okutumbula omutindo gwe bye balima.
Omubaka wa Gavumenti mu disitulikiti eno, Jane Francis Kagaayi bwe yabadde akwasa abalimi n'abalunzi ttulakita ku kitebe kya disitulikiti e Buikwe, yannenyeza abavunaanyizibwa ku byobulimi ku magombolola olw'obutagenda mu nnimiro ne batuula mu ofiisi zaabwe kye yagamnbye nti kibakotogera kubanga tebafuna kuyambibwa kutuufu.
Yagambye nti balina okukozesa ennambula ebaweebwa okusobola okuyamba abantu.