TOP

Bateeze omusawo ne bamutta mu ntiisa

Added 21st February 2020

OMULAMBO gw’omusawo abadde amaze olunaku nga talabika, abatuuze baagusanze gufumitiddwa ebiso ku mutwe ne mu bulago ku njuyi zombi okumpi n’essabo eririraanye amaka ge.

 Nassaazi eyattiddwa.

Nassaazi eyattiddwa.

OMULAMBO gw'omusawo abadde amaze olunaku nga talabika, abatuuze baagusanze gufumitiddwa ebiso ku mutwe ne mu bulago ku njuyi zombi okumpi n'essabo eririraanye amaka ge.

Francesica Nassaazi 38, yavudde awaka ku Lwokubiri ku ssaawa nga 12:30 ez'akawungeezi ng'agenze kugula ennyaanya ze yabadde agenda okufumbisa, bwe yavuddeyo, yayitiddeko ewa mukwano gwe ku kyalo gwe bamanyi nga Maama Muzeeyi okumpi n'amaka ge e Namagoma B, Kyengera ku lw'e Masaka.

Okuva ewa mukwano gwe okutuuka ku maka ge, waliwo mmita nga 300 era abatuuze bateebereza nti, abaamusse baamuteeze mu kkubo ng'adda ewuwe ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro.

Omulambo we gwasangiddwa waabadde kumpi n'amaka ga Nassaazi ate nga guli kumpi ddala n'essabo.

Maama Muzeeyi gwe yabadde akyalidde, yagaanye okubaako ky'ayogera ku nsonga zino era abantu be ne bategeeza nti okuttibwa kwa Nassaazi kwamukubye encukwe n'ebigambo ne bimuggwaako.

Omulambo gwa Nassaazi gwalabiddwa abaana abaabadde bagenda ku ssomero. Omulambo gwabadde guvuunikiddwa era abaana bwe baagulabye ne bayita Susan Mukama bamulage "omuntu" gwe baabadde tebategeera gwe baabadde balabye.

Mukama yagambye nti, abatemu omulambo gwa Nassaazi baagubisse akakooti ke yabadde ayambadde ku mutwe ekyazibuwalizza abantu okutegeera amangu nti ye mutuuze munnaabwe era baasoose kulowooza nti eyattiddwa baamuggye walala, omulambo ne bagusuula mu kitundu kyabwe.

Ensawo ye ey'omu ngalo, baagimusonsese mu magulu wakati mu bisambi ng'ekiteeteeyi kye ekya kakobe kye yabaddemu bakiwenjudde okutuuka mu kiwato ng'ekitundu kya wansi bakirese tekuli kagoye ekyalowoozesezza abantu nti kyandiba ng'abatemu baasoose kumukwata.

Ennyaanya ze yabadde ava okugula nazo zaabaddewo ku mabbali mu kaveera akaddugavu nga n'ezimu bazimansizza, nga waliwo n'obubonero obulaga nti waabaddewo okulwanagana nga kiteeberezebwa nti Nassaazi yabadde agezaako okwesimattula ku batemu.

Mukama yagambye nti, bwe yamaze okulaba omulambo, yakubidde ssentebe w'ekyalo Issa Muteesaasira wabula teyabadde mu kitundu naye n'akubira oweebyokwerinda Mohammad Mpundo Kawenda.

Mpundo yategeezezza nti, yakubidde atwala poliisi y'e Kakungube n'amulagira atuuke ku kifo amale okukakasa amawulire. Agamba nti, yatuuse naye ng'alaba omuntu tamutegeera n'addamu n'akubira poliisi.

Yayongeddeko nti, poliisi omulambo yaguggyeewo ku Lwokusatu n'eguteeka ku kabangali olwo n'eyita abantu okulaba oba eyabadde attiddwa bamumanyi era mu kwetegereza, baakizudde nti, Musawo ye yabadde attiddwa.

Nassaazi yali akolera mu ddwaaliro ly'e Nsambya kyokka ennaku zino abadde yavaayo nga yafuna omulimu omulala.

POLIISI EKUTTE OMUNTU OMU N'AMASIMU AGABBIDDWA KU KYALO

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, baakakwata omuntu omu gwe bateebereza okwenyigira mu ttemu lino.

Mpundo yagambye nti, eggulolimu nga tebannazuula mulambo gwa Nassaazi, ababbi ab'emmundu baalumbye ekyalo ky'e Nakitokolo, Namagoma ne Nabbingo ne babba amaka agawerako era mu babbiddwa mwabademu ddereeva eyabadde asuze n'emmotoka ya mukama we era babbye n'amaka g'omu ku basirikale ba poliisi.

Mu bintu bye babbye, mwabaddemu amasimu n'eby'omu nnyumba ebirala era poliisi mu kubagoba, yakutteko omu eyabadde n'amasimu agaabadde gabbiddwa e Namagoma ng'ono kiteeberezebwa nti, yandiba ng'amanyi ku ttemu lya Nassaazi.

Onyango yagasseeko nti, omulambo baagusanzeeko ebiwundu ebinene bibiri nga n'okutu kwa ddyo kusaliddwaako n'agattako nti, Nassaazi batuuze banne baasemba okumulaba ku Lwokubiri nga February 18, 2020.

Mpundo yagambye nti, ekizibu kye balina ku kyalo, abatuuze baabwe ebyokwerinda baabirekera bakulembeze ng'ate nabo obusobozi balina butono n'agamba nti, poliisi y'ekitundu kyabwe erina abasirikale bana bokka.

Yagasseeko nti, abatuuze babayita mu nkiiko z'ekyalo okuteesa ku ngeri gye banaanyweza ebyokwerinda ne beesuulirayo gwa nnaggamba nga ne balandiroodi tebaagala kwanjula bapangisa baabwe mu bakulembeze. Robert Ssemwanga omu ku baffamire ya Nassaazi yagambye nti, omugenzi abadde talina musajja era tabadde na mwana ng'awaka abeerawo yekka.

Abadde yazimba emizigo gy'abapangisa naye kw'abadde asula mu muzigo ogumu. Omulambo olwaggyiddwa mu ggwanika ne gutwalibwa e Kikukumbi mu distulikiti y'e Kalungu okuziikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...

Uhuru n’abawagizi be nga bamusitudde oluvannyuma lw’okuwangula ekya mmeeya wa Kampala Central.

Abawanguddwa ku bwammeeya b...

ABAAWANGUDDWA ku bwammeeya bwa munisipaali ez'enjawulo balaze kye bazzaako oluvannyuma lw'ebyavudde mu kulonda...

Chance Kahindo eyawangudde e Kasese.

Omuyimbi awangudde e Kasese

OMUYIMBI Chance Kahindo Sibyavugha owa FDC, yawangudde ekya Mmeeya wa Munisipaali y'e Kasese oluvannyuma lw'okuwangula...