
Akubye amasasi mu badigize n'attirawo mwenda
Tobias Rathjen, nga yeeyambisa emmundu ennene, yasoose kulumba ebifo bya mirundi ebiri abadigize mwe banywereza enjaga eya ‘Shisha'
Mu lulumba olwasoose, Rathjen yalumbye ebbaala eyitibwa Midnight bar mu kibuga Hanau ekyesudde mayiro 12 okuva mu kibuga Frankfurt ekya Girimaani ku ssaawa 4:00 ez'ekiro , awo n'attirawo abantu bana n'okulumya abalala musanvu.
Waayiseeko eddakiika nga 15 , n'akola obulumbaganyi obwokubiri ku bbaala ya Arena Bar nayo esangibwa mu kibuga Hanau, awo n'attirawo abantu bataano nga bano yabasanze mu kasenge omujjudde omukka omweru nga bakommonta enjaga eya ‘Shisha' era kigambibwa nti abo we yabakubidde amasasi nga n'ebiri ku nsi tebabimanyi kubanga Shisha yabadde abali ku mitwe .
Ng'amaze okutta abantu, ekifo kyonna kijjudde omusaayi n'abawonyewo babunye ebiwabo, Rathjen yalinnye emmotoka n'adduka era poliisi yagenze okutuuka mu kitundu yasanze nsassagge, olwo n'eyungula abawanvu n'abampi okutandika omuyiggo.
Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa ‘Bild', olusinga okutunda mu Girimaani , poliisi yalondedde omuvubuka oyo n'emutuukako mu nnyumba mw'abadde asula wabula yagenze okusamba oluggi yasanze emirambo ebiri nga ogumu gwa Rathjen ate omulala gwa nnyina.
Poliisi yazudde akatambi Rathjen ke yeekutte ng'agamba nti abantu abo b'asse basaana okusaanyawo kubanga baava mu nsi zaabwe ne bakajjala mu Girimaani nga kati kizibu okubatikka okubazzaayo ewaabwe kubanga baagundiira dda era ekirina okubakolwako , kwe kubatta n'agamba nti ye ogugwe agukoze, n'abalala banaatandikira awo.
Mmeeya w'ekibuga Hanau, Claus Kaminsky, yategeezezza nti talina kubuusabuusa kwonna, kino ekikolwa kya butujju bwennyini n'agamba nti buno bwe butemu obukyasinze okubeera obwentiisa mu byafaayo by'ekibuga Hanau.