TOP

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu

Added 21st February 2020

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu okutuuyana nga bamubuuza ebibuuzo.

 
Felix Abura, omuserikale ku poliisi ya Jinja Road ye yattulukuse entuuyo nga bwe zikalaera y'abadde omujulizi owa 13 okulumiriza Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari mu musango ogw'okukuba omugenzi Kenneth Akena amasasi e Lugogo ku bigambibwa nti yakolobola mmotoka yaabwe.
 
Omulimu gwa Abura gwali gwa kugenda awaali ettemu e Lugogo okumpi n'ekibangirizi kya UMA n'ekibanda kya Malik n'akuba maapu y'ekifo.
 
Yazze ne mmaapu ng'eraga awaali ettemu n'ekifo mmotoka ya Kanyamunyu n'eya Akena we zaali kyokka maapu yabaddemu ebirumira.
 
Oluguudo awaali ekiweta, mmaapu tekiraga, awali ekyambuka nga tekiraga, teraga buwanvu bwali wakati w'ekibanda ky'emmotoka ne ku UMA n'ettemu we lyali ate era teyapima bbanga lyali wakati w'emmotoka ya Akena ne Kanyamunyu.
 
Yasoose kugamba nti mmaapu yagikuba kiro nga November 12, 2016 n'addayo nga November 14 yeetegereze bulungi kyokka yabikyusizza n'agamba nti waliwo eyamutegeeza nti alina omukyala eyalaba nga Kanyamunyu akuba essasi gwe yali agenze okunoonya.
 
Omulamuzi yamubuuzizza oba yaddayo okukuba mmaapu eyo oba yanoonya omukyala gwe baali bamugambye kyokka Abura yabuliddwa eky'okuddamu.
 
Bwe yabuuziddwa ensonga eyamulesaayo ebintu ebimu ku mmaapu yagambye nti yabyerabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...