TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

Added 22nd February 2020

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

 Empirivuma epakiddwa aba Prof Bioresearch

Empirivuma epakiddwa aba Prof Bioresearch

EMPIRIVUMA, abantu abamu bagiyita lukindukindu ate abalala kisansa kubanga kwe kuva ensansa eziruka emikeeka n'okunyeenya amatabi. Bonna batuufu, naye omuti guno bwe gukula ebibala bye guteekako bye biyitibwa empirivuma.

Omuti guno guvaako n'enkoma ze batera okukozesa mu kusiba ssehhenge oba okutindira emyala egibomose era olw'obugumu bwagwo kwe kuva erinnya lya Kabaka erya Lukoma.

Ensigo z'empirivuma ze zimu ku nsigo ezikyasinze okukaluba era omuti kwe ziva gumala emyaka egisoba mu 50 nga gusika eminnyo mu ttaka ne gugiyingiza mu nsigo zaagwo. Enkima n'ebisodde birya ensigo zino ne bitalumbibwa ndwadde. Tezirina bulabe ku muntu, era tuzirya naye engeri gye tuzitegekamu si ntuufu. Abamu basooka kuzisiikako ate ekitta ebirungo ebirimu.

Osaanye kuzirya nga mbisi naye zikaluba awo ffe aba Pro Bioresearch tukwanguyirizza ne tukamulamu butto. Era butto akamuddwaamu ayamba ku bino:

1 Okwongera omutima amaanyi n'okugumya ebinywa ne nnabaana. Ky'ova olaba edda abakyala nga bali lubuto nga bazirya ne basobola obutazaalira ku biso.

N'olumu nga bazaalira waka ku kitooke.

2 Egumya amagumba, omuntu n'atambula olugendo oluwanvu naye nga takooye era bw'otunuulira Abasenegal abazirya ennyo baba bagumu ate nga balina amaanyi. Tunuulira ku bazannyi b'omupiira abavaayo.

3 Ezibukula enseke z'abakyala kuba erimu ekirungo kya ‘Nicotinic acid' ekizibukula enseke z'abakyala amagi ne gasembera omukyala ne kimwanguyira okufuna olubuto.

4 Eyamba ku bakyala mu nsonga obutalumizibwa era bakozesa butto ono.

5 Nnungi ku bantu abalina enkwaso ennafu, naddala ssinga omukozesa ng'omugasse wamu ne butto ava mu biryo by'ensujju.

6 Ziyamba abaana abasoma kuba butto alimu vitamiini B6 ayamba omuntu okulowooza n'okukwata amangu.

7 Butto ayamba okukkakkanya ku alusa.

8 Ayamba ku binyama ebikwata mu nnyindo naddala mu baana ne baba nga baziyira olumu kibaviirako okufa.

9 Akola ku bizimba mu nnabaana kuba etereeza obusimu bw'omubiri n'otofuna bizimba. 10 Abantu abeerabira ennyo naddala abakadde, butto abayamba okusisimula obusimu ne bateerabiralabira.

11 Akola yogati, oddira butto w'empirivuma n'omugatta mu yogati n'okola yogati azzaamu amaanyi ate nga wa butonde.

12 Empirivuma ekuzzaamu amaanyi g'ekisajja n'okuwangaalira mu kisaawe.

13 Eyamba ku bantu abalina obulwadde bw'abazira, ssinga onywa akajiiko kamu ng'ogitadde ku mazzi agabuguma.

14 Abaana abatera okulumbibwa endwadde era ebayamba okuzirwanyisa. Ekibi empirivuma bagitemye naye ky'ekiseera okutandika okugisimba.

Bw'oba onywa oteeka akajiiko kamu mu mazzi agabuguma. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...