TOP

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans

Added 23rd February 2020

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans

 Chris Evans ne Rema nga bayimba ku Joggies oluvannyuma lw’okuddihhana.

Chris Evans ne Rema nga bayimba ku Joggies oluvannyuma lw’okuddihhana.

Nga tannasimbula kugenda ku Joggies e Bulenga okuyimba mu kivvulu kya Rema, Godfrey Kayemba maneja wa Rema Namakula yasoose kubira Chris Evans ssimu n'amusaba ave mu by'entalo akomewo ku siteegi bakole.

Guno gwabadde mulundi gwakubiri nga Kayemba eyali maneja wa Chris Evans ayogerezeganya naye ku butakkaanya wakati we (Evans) ne Rema era mu bingi bye yamuyitiddemu mwe mwabadde n'okumulaga nti olutalo lw'assaawo terugenda kumuyamba okuggyako okubatabula n'okuboonoonera amannya bombi.

Bino we bijjidde nga ennaku ettaano Chris Evans ze yawadde Rema okumwetondera ziweddeko (zaaweddeko ku Lwakutaano) era ng'abawagizi balindiridde kulaba ky'azzaako kuba Rema eby'okwetonda yabigaanye ng'agamba talina musango gwe yazza. Bwe baali ku Hotel Africana, Rema yayanjula Chris Evans ku siteegi ng'omusajja eyakubwa ennyondo omusanvu n'atafa ate Evans bwe yayogera ku linnya lya Kenzo, Rema ne yeecanga n'eby'okuyimba n'abivaako.

Ku Lwokutaano nga February 21, Chris Evans yagenze e Bulenga ku Joggies awaabadde ekivvulu kya Rema.

Yatuuseewo ku ssaawa 5:00 ez'ekiro era yatuukidde mabega wa siteegi. Abaabaddewo tebaasoose kukkiriza nti ye ye era waliwo abaawuuliddwa nga bawakana nti "Chris Evans ku ngeri gy'abadde awera, tasobola kulinnya wano." We yatuukidde nga Rema ali ku siteegi akuba emiziki egy'okumukumu.

Bwe yatuuse ku luyimba lwa ‘Linda', Rema yayimbye ekitundu kye kyokka ekya Chris Evans bwe kyatuuse abantu baalabide awo ng'alinnya ku siteegi olwo enduulu n'evuga okuva mu bawagizi abaabadde bakwatiridde ekifo. Okwawukanako ne bwe gwali ku Hotel Africana, ku mulundi guno oluyimba baaluyimbye nga bwe luli awatali kugattamu yadde okutoolako ekigambo kyonna.

Rema ayogedde Rema bwe yagambye nti kirabika Chris Evans ku Africana yamufuna bubi naye talina kye yamukola.

Yagasseeko nti Evans mukwano gwe era baali basaagamu nga bwe batera okukola ku bivvulu ebirala. Chris Evans alidde ebigambo bye Chris Evans eyasooka ‘okunyooka' ng'agamba tagenda kuddamu kuyimba na Rema olw'okumuyisa obubi, yagambye nti oluvannyuma lwa Rema okugaana okumwetondera ye asazeewo amusonyiwe baddemu okukolagana. Oluyimba ‘Linda', Rema ne Chris Evans lwe bayimba lwa mukwano.

Engeri Kayemba gye yabatabaganyizza Olw'okuba yaliko maneja wa Chris Evans ate nga baasigaza omukwano, Kayemba kyamwanguyidde okutuuza ababiri bano bave mu kunenehhaana. "Ky'olina okumanya bano balinga abooluganda abafunyeemu obutakkaanya.

Nabatuuzizza ne mbabuulirira nti bino bye balimu tebiyamba, bafe ku bibatwala mu maaso okusinga obusongasonga obutalimu. Katonda mulungi baakitegedde ne batabagana era kati twazzeemu okukola," Kayemba bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...