TOP

Aba People Power bongedde okwenyweza

Added 23rd February 2020

Aba People Power bongedde okwenyweza

ABA People Power bongedde okwenyweza ng'eggwanga lisemberera akalulu ka 2021 bwe bazimbye ekitebe we banaasinziira okutalaaga eggwanga. Ekizimbe kwe baatadde ekitebe kyabwe, kyazimbiddwa Kamwokya okuliraana Ssemakookiro Plaza we babadde batuuza enkiiko.

Bataddeko ebisenge eby'enjawulo mwe bagenda okuteeka ofiisi n'ekisenge ekinene mwe bagenda okutuuzanga enkiiko nga kituuza abantu 1,000. Ono, y'omu ku kawefube w'akulira ekisinde kino, Robert Kyagulanyi okulaga abantu nti, amaliridde okuvuganya Pulezidenti Museveni mu kalulu.

Ekizimbe bakitaddeko ebifaananyi by'abalwanirizi b'eddembe abazze babeerawo mu nsi yonna. Ekifaananyi kya Bobi Wine kye kisooka ng'afunyizza ekikonde (akabonero ka People Power), Nelson Mandela, Yvone Chaka Chaka, Thomas Sankara n'abalala.

Ssenyonyi yagambye nti, ekitebe kye baazimbye, kyatandise dda okukola kyokka teyawadde muwendo gwa ssente ze kyamazeewo n'agamba nti, waliwo abaaweebwa omulimu guno be balinda okubawa embalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...