TOP

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Added 23rd February 2020

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

POLIISI e Kyotera ekutte abeeyita abasawo b'ekinnnasi abafere ku bigambibwa nti balina omukyala Faridah Nansubuga 37, gwe baafeze ne bamunyaga obukadde 15.

Abakwate kuliko Hakim Walukagga eyeeyita Jjajja Kkuboggazi , Musaazi eyeeyita Jjajja Musambwa n'omulala eyeeyita Jjajja Bamweyana so ng'abalala okuli ssaalongo Buulu Ntege ow'e Kibonzi-Nabigasa eyasendasenda omukyala ono okumutuusa ku banne, baliira ku nsiko.

Nansubuga yagambye nti yalina ekirabo ky'emmere ekyamaanyi mu kabuga k'e Kiwangala mu disitulikiti y'e Lwengo akayitibwa Allahu Akbar Hallal Hotel. Omu ku bafere ayitibwa ssaalongo Buulu Ntege yasooka kubeera kasitoma we nnyo ne yeefuula mukwano gwe ng'amuwa amagezi okubaako gye yeetambulira ayongere okufuna ssente.

‘OMUFERE ANSENDASENDA' Nansubuga yagambye nti Ntege yatandika na kumuwola ssente naye n'amwesiga. Ntege yamunnyonnyola nti ye okubeera ne ssente yasooka kwetambulirako n'atta emikago n'emisambwa.

Yagambye nti Ntege yamupererza okumala ebbanga ekyavaamu n'akkiriza amutwale. Baagenda e Namiryango mu ggombolola y'e Nabigasa e Kyotera gye yamugamba nti gy'alinnyira olusozi okwali ebiyinja ebinene.

Nansubuga yagambye nti Ntege yagamba abasamize be yasanga ku lusozi nti abaleetedde omuzzukulu bakole ku nsonga ze afune obugagga nga bwe baamuwa (Ntege).

"Baatandika okunkolako emikolo kyokka ne bandagira nsooke ndeete obukadde 15 bankolere ku nsonga zange," Nansubuga bwe yayongeddeko. Yagambye nti ‘emisambwa yasooka kugisaba obukadde 50 ne bamutegeeza nti obusente butono baagala bamuwe obukadde nga 500 agende yeeyagale.

Kyazuuliddwa nti omu ku bano y'abadde yeekweka emabega w'ejjinja n'ayogera ng'omusambwa alowoozese gwe baba baleese okufera mbu musambwa gwe gwogedde! Nansubuga yannyonnyodde nti Ntege yamuteeka ku puleesa n'amugamba anoonye ssente ze bamusabye okukkakkana ng'atunze amaka ge ku bukadde 9, ekibanja kye n'okwewola ssente mu bbanka asobole okuweza ensimbi ezaamusabibwa.

BAMUWA ENNAKU Z'OKUGAGGAWALA

Yategeezezza nti baamuwa ennaku mw'alina okuddirayo afune obugagga bwe mu nsawo gye baamutuma ne bamukuutira obutabaako muntu gw'abitegeezaako.

Baamutambuza okumala akaseera era ekyasembyeyo ng'alaba bigaanyi baamukubira essimu ne bamutegeeza nti kati emisambwa gikkirizza okumuwa obugagga ne bamusaba abaweereze akakadde k'ensimbi akalala bagule ente eyookubaaga, agendeyo ku lusozi yekka naye kye yakola.

Oluvannyuma lw'okumuyisa mu mitendera gyonna,omu ku bo gwe yagambye nti ye Musaazi n'amugamba nti emisambwa gyagala asooke yeegatte naye olwo byonna biggwe.

Yalumiriza nti waaliwo omupango gw'okumuttira mu nsiko ku lusozi luno. Nansubuga yagambye nti yeesimattudde ku musamize n'adduka olwo n'abafere ne balinnya mmotoka ne badduka kyokka ne yeetegerezaako omu ayitibwa Hakim Walukagga nga naye yamulabanga nga kasitooma ku wooteeri ye.

Ensonga yazitutte ku poliisi eyasitukiddemu n'ekwata Walukagga ne Musaazi ate omulala eyeeyitajjajja Bamweyana n'emukwatwa nga yeefudde azze okweyimirira banne.Ssaalongo Buulu Ntege n'abalala bakyanoonyezebwa.

Abatuuze ababeera okumpi n'ekifo kino baagambye nti tebawulirangako musambwa gwonna mu kyo naye bazze bawulira abantu ab'enjawulo abakukkuluma nti bababbyeeko ssente zaabwe.

Omuduumizi wa poliisi mu Kyotera, Abbey Ngwiire yategeezezza nti abakwate bagguddwaako ogw'obufere n'obubbi era bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...