TOP

Asse mukazi we naye ye yeetuga

Added 24th February 2020

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu

 Abatuuze nga balingiza okulaba omulambo gwa Kantono

Abatuuze nga balingiza okulaba omulambo gwa Kantono

Bya Saul Wokulira 

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amulesa omwana wa myezi musanvu naye oluvannyuma ne yetta.

Entiisa eno yagudde ku kyalo Ngeye mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga.

Tonny Oyo, ye yatemyetemye mukazi we, Sarah Kantono n'oluvannyuma ne yeetuga. 

Abafumbo babadde n'omwana omu wa myezi musanvu era baamulese awo nga taliiko ayamba.

Ssentebe wa LCI ow'ekyalo kino, Bernard Oboth yagambye nti, Oyo muganda we ddala era bazaalibwa ku kyalo kino ekya Ngeye ate ye omukazi nzaalwa ya ku kyalo Nabitula mu ggombolola y'e Bugaya mu disitulikiti y'e Buyende. 

Oluvannyuma poliisi y'e Kayunga yaggyeewo emirambo n'egitwala mu ggwanika ly'omu ddwaaliro ly'e Jinja ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. 

 Akulira bambega ba poliisi e Kayunga, Isaac Mugera yagambye nti, ensonga eyatabudde abafumbo tennaba kumanyika wabula ng'okubuuliriza kutandise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo