TOP
  • Home
  • Agawano
  • Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga essomero lya siniya

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga essomero lya siniya

Added 24th February 2020

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

 Ssentebe Tom Sserwanga, omubaka wa Ntenjeru South Fred Baseke, RDC Mwanamoiza n'abakungu abalala nga batema evvuunike awagenda okuzimbibwa essomero.

Ssentebe Tom Sserwanga, omubaka wa Ntenjeru South Fred Baseke, RDC Mwanamoiza n'abakungu abalala nga batema evvuunike awagenda okuzimbibwa essomero.

Bya Saul Wokulira

Gavumenti etandise okuzimbira ab'e Kayunga essomero lya siniya nga eritaddemu bbiriyooni 2.

Essomero lino eriyitibwa, Nazigo Seed Secondary School, lizimbiddwa ku kyalo Musiitwa mu ggombolola y'e Nazigo mu disitulikiti y'e Kayunga.

Ku mukolo ogw'okutema evvuunike awagenda okuzimbibwa siniya eno, yinginiya wa disitulikiti y'e Kayunga, Jonathan Wazimbe yagambye nti, gavumenti yawadde Kayunga ssente ez'okuzimba essomero lino nga lya bizimbe 10 nga kuliko ebibiina abayizi mwe basomera, ofiisi, laabu za ssaayansi, etterekero ly'ebitabo n'ebirala.

Ssentebe wa disitulikiti, Tom Sserwanga yasabye abakwasiddwa kontulakiti okuzimba essomero lino aba Haso engineering works okukola omulimu omuyonjo ogutuukana n'omuwendo gw'ensimbi ezibaweereddwa era n'agamba nti, tebajja kulonzalonza kuvunaana abanaatunda ebikozesebwa.

Sserwanga agamba nti, essomero lino nga liwedde lijja kumalawo ekizibu ky'abaana okutindigganga eng'endo nga bagenda ku masomero n'abalala ne bawanduka.

Bakontulakita nga bakulembeddwa, Frederick Kitandwe beeyamye nti omulimu baakugumaliriza mu myezi 18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...