TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni tayagala kuggya musolo ku masomero ne yunavisate

Museveni tayagala kuggya musolo ku masomero ne yunavisate

Added 24th February 2020

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza emisolo.

 Mugawe (ku kkono) , Pulezidenti Museveni ne Sipiika Kadaga nga balambula yunivaasite ya UCU.

Mugawe (ku kkono) , Pulezidenti Museveni ne Sipiika Kadaga nga balambula yunivaasite ya UCU.

"Lwaki amasomero ne yunivasite biggyibwako omusolo? Sirowooza nti eky'okusolooza omusolo ku matendekero g'ebyenjigiriza kirowoozo kirungi." Pulezidenti Museveni bwe yagambye.

Yagasseeko nti waakiri ensimbi ze bakozesa okusasula emisolo bazigulemu ebintu ebikozesebwa mu kusomesa amasomo ga ssaayansi.

Okwogera bino, Museveni yabadde ayanukula akulira abayizi ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono, Timothy Kadaga eyamusabye ayambe mu kussa mu nkola eky'okuggyawo emisolo ku yunivasite.

Museveni yabadde ku UCU ng'omugenyi omukulu mu kutongoza emisinde egyategekeddwa okusonderako ensimbi okuyamba abayizi abawanduka ku yunivasite olw'okulemererwa okusasula ebisale ebyekanamye.

Museveni yawaddeyo obukadde 80 nga ku zino obukadde 30 yabuwaddeyo mu buliwo.

Omumyuka wa Vice Chancelllor wa UCU, David Mugawe yategeezezza nti olw'oluguudo olugenda ku yunivasite obutabeerako mataala, kitadde obulamu bw'abayizi mu matigga nga bangi bababbyeeko ebintu byabwe omuli amasimu, kkompyuta, ensimbi, n'ebirala.

Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga yagambye Museveni nti eky'okuteeka amataala ku kkubo erigenda ku UCU kikulu nnyo kuba erina abayizi 13, 000 ng'ate abasinga ku bano basula mu bisulo ebiri ebweru wa yunivaasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...