
Hussien Mugula aba LDU gwe baakubye amasasi e Kiwuulwe ng’ali mu ddwaaliro e Mulago.
ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng'entabwe evudde ku bbiina ly'abantu abaabadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo mu lukiiko lw'ekyalo.
Bino byabadde Kiwuulwe ku luguudo lw'e Ntebe, abaserikale ba LDU bwe baabadde bagezaako okugumbulula abeekalakaasi ekyaddiridde kukuba abantu babiri amasasi ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bali bubi.
Abaakubiddwa amasasi ye; Marvin Mawanda ne Hussien Mugula ng'amasasi gaabakutte ku mikono.
Mawanda ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Ntebe ate ye Mugula ajjanjabibwa Mulago.
Entabwe yavudde ku batuuze okuva mu mbeera ne baagala okugajambula mutuuze munnaabwe eyategeerekeseeko era Sempijja gwe balumiriza nti alina ebyawongo ebisusse okubattira abantu baabwe.
Bagamba nti abantu mwenda okuli abaana n'abakazi mu bbanga lya mwezi gumu be bafudde ebitategeerekeka bo kye bayita ebyokoola.
Ssentebe David Kasujja olwalabye ng'abantu batabuse yasazeewo okukubira poliisi eyasobodde okutuuka amangu n'abasirikale ba LDU.
Bano baagezaako okutaasa Mulokole Ssempijja eyabadde asongeddwaamu olunwe abaserikale bano ne bakuba amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abeekalakaasi abaabadde beesomye okukola obulabe ku Ssempijja kyokka mu kavuvuhhano kano abantu babiri masasi ne gabakwata.
Amyuka RDC w'e Ntebe Hajji Noor Njuki Mbabali yavumiridde ekikolwa ky'abatuuze ekyokumala gateebereza bantu ne batandika okwegugunga n'okwagala okukola obulabe ku muntu gwe batalinaako bujulizi ku byokoola.
Yabasabye okukuuma emirembe n'ategeeza nti baakugenda mu maaso n'okukola okunoonyereza bazuule ekivaako abantu okufa mu kitundu kyabwe.
Akulira aba LDU e Ntebe, Maj. George Kazaala yasabye abatuuze okukkakkana beewale ebikolwa by'okutwalira amateeka mu ngalo.