TOP

Ab'ewa Kisekka batabukidde Gavt.

Added 24th February 2020

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa ng’eragira KCCA okweddiza ekitundu ekitannazimbibwamu kiweebwe ekiwayi ky’abasuubuzi abakaayana nti, tebaafuna maduuka.

"Gavumenti ky'erina okumannya nti yiika 3 n'ekitundu okuli akatale, twagulawo mu mateeka. KCCA terina ky'etubanja noolwekyo tesobola (KCCA) kweddiza ttaka lyaffe, tulinawo amaduuka 642 omutali bantu. Bannaffe abo twabayita dda bajje bagasasule kyokka tewali yali azze", omwogezi w'akatale kano Simon Peter Lubwama bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti wiiki ewedde minisita wa Kampala Betty Amongi yabayise ng'ebiwayi by'abasuubuzi ab'ewa Kisekka okwogera ku kyasalibwawo kabineeti, KCCA okweddizzaako ekitundu. Yagambye nti, baamunnyonnyodde nti, ekyo tekijja kukola kubanga ettaka baalisasula dda mu KCCA noolwekyo teyinza kulyeddiza.

Bino Lubwama yabadde abinnyonnyola abasuubuzi abali mu kiwayi kya Kasolo mu lukiiko olwatudde mu kibangirizi ky'akatale kano KCCA ky'eyagala okweddiza.

"Wakati mu bigambo ebisongovu obwedda abasuubuzi bye baayogeredde gavumenti, eyabaguza ettaka lino ate n'emala n'ebeekyusiza bakkanayizza nti, gavumenti bw'enaaba ekkirizza bagenda kugiguzaako akatundu ku ttaka akagendako amaduuka 642, wokka era ssente zino bagenda kuziteeka ku akawunta ya ROKO ebazimbira", bwe batyo abasuubuzi bwe baasazeewo.

Baagambye nti ekirungi ng'amaduuka gawedde buli musuubuzi aguze edduuka lye agenda kubeera n'akyapa kye nga kiri mu mannya ge, olwo singa kino kigaana gavumenti n'eremerako nti eyagala ekibangirizi kyonna ekisigaddewo bagenda kumalira mu kkooti kubanga nayo ekimaanyi nti ky'ekola kimenya mateeka.

Kasolo yagambye bannannyini maduuka 179, abaamala edda okuyingira okutandika okuwa ssente z'amassannyalaze kubanga bakyakozesa ga ROKO okutuusa ng'emaze okuzimba gattako ssente za kasasiro.

Ebizimbe byombi okuli Block A, eyaggwa eriko amaduuka 179, ne Block B, egenda mu maaso n'okumalirizibwa byonna bikola amaduuka 512, Era kino kitegeeza nti ekyabula amaduuka 1,300, bammemba okuggwaayo n'olw'ensonga eno tetuyinza kuwaayo ttaka lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono