TOP

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Added 25th February 2020

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

 Abafamire babiri abafudde Pressure

Abafamire babiri abafudde Pressure

OKUFA kw'omugagga kalanzi ku kanze aba famire ye ekiviriddeko omu okufa abalala ne batwalibwa muddwaliro nga bataawa.

Ekikangabwa kino kyagudde  ku kyalo Bukoto mu muluka gwe Luteete mu ggombolola ye Kikamulo mu disitulikiti ye Nakaseke omugagga w'omu kitundu  Godfrey Kalanzi 69 bwe yalumbiddwa ekirwadde kya puleesa naddusibwa muddwaliro e Kirundu gye yafiiridde ku Sande ,

Aba famire abaakulembeddwamu mwanyina Sarah Kasule 74  omulambo baagututte ku kyalo Bukoto mu maka ge , ku Mande ssaawa 4 ez'okumakya  baatudde mu lukiiko okuteekateeka okuziika , mu lukiiko abamu baalese ekiteeso omugenzi azikibwe ku bigya b'abajjajja be Kapeeka ku kyalo Togo ng'abaana baakisimbidde ekuuli .

Abaabadde basemba aziikibwe e Togo baategeezezza akabuga ke Bukoto kagenda kakula nga gyebujjako bajja kuba tebakirizzamu kuziikamu wano Kasule puleesa we zalinyidde baamutadde mu mmotoka  nafiira ku geeti eyingira muddwaliro lye Kiwoko Kasule abadde mutuuze we Kasubi .

Benjamin Ssepuuya mutabani w'omugenzi  omukulu (Kalanzi) yategeezezza nti  Sarah Kasule y'abadde mukulu wa kitaabwe  nga babadde bagalalana nnyo ng'era muddwaliro e Kirudu Kasule abaddeyo okulaba ng'ajjanjaba mwanyina, yagasseko nga kalanzi ng'abagenzi bombi be babadde empagi mu famire .

Yagasseeko nti kalanzi aludde ng'atawanyizibwa e kirwadde kya puleesa wabula baagenze okumutuusa e kirundu abasawo ne bazuula nti yabadde n'ekirwadde kye nsigo.

Ku sande ekiro Sarah Kasule yasuze agumya Namwandu nga bwatalina kutya ku baana abakyasoma namusuubizza nti okuziika bwe kugwa agenda ku batwala e Kampala abasomese , Omulambo gwa Kasule basoose ne bagutereka mugwanika ne baziika Kalanzi ku Lwokubiri e Bukoto ate Kasule wakuzikibwa ku kyalo e Togo Kapeeka.

Kalanzi abadde musajja mugagga ng'abadde amanyikiddwa mu Luweero , e Nakaseke  ne Munyonyo yalinayo amayumba g'abapangisa n'agatunda , abadde n'ettaka eriwezza Square Milo 3 ng'erimu azze alitunda.

 

Daniel Kibudde kizibwe w'omugenzi yategeezezza nti Kalanzi y'omu ku baakweeka museveni mu lutalo olwaleeta NRA mu buyinza ,yagambye nti kalanzi abadde musajja mulimi ,mulunzi ng'era wafiridde alina byakoledde ekyalo kye  Bukoto,Kalanzi alese abaana abasoba abawerako n'abazukulu abasoba 20

Omulambo gwa mwanyina basoose gukumira muddwaliro e Kiwoko  olwamalirizza okuziika Kalanzi ku Lwokubiri ne bagujjayo ne baguteeka e Bukoto nga wakuzikibwa ku Lwokusatu e Togo Kapeeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...