TOP

Walukagga atadde akaka mu luyimba lwe olupya

Added 25th February 2020

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu oluyimba.

 
 
Oluyimba lwe yatuumye "Akanyomonyomo" lw'ogera ku mbeera eriwo ey'okunyigirizibwa, obutali bwenkanya kwossa n'ejjoogo.
 
Mu luyimba lwe lumu ayogera ku mbeera eyaliwo ng'abakungu okuva mu bbanka enkulu baggalawo bbanka ya Crane Bank.
 
Mu luyimba luno abakungu b'ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo abalabula obuteeyisa ng'abakungubazi abalinda obudde okuziba ku nnyimbe olwo ne batandika okwenyigira mu bikolwa eby'okwegadanga.
 
Era Walukagga agenda mu maaso n'akubiriza abantu okuyigira ku nsobi zaabwe ez'emabega.
 
Justine Bagyenda, Dr Louis Kasekende, n'abakungu abalala be bamu ku be yatadde mu lutambi (vidiyo) y'oluyimba luno.
 
Walukagga azze ayimba ennyimba ezikwata ku mbeera y'omuntu wa bulijo kw'ossa n'embeera y'obufuzi egenda mu maaso mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...