
"Abaamusse bakimanye nti bongera kunyiiza bantu kwongera kulwanirira ddembe lyabwe", Kyagulanyi bwe yagambye abakungubazi abaabadde abangi.
Wabula poliisi erumiriza nti Nabukenya yafudde oluvannyuma lwa bboodabooda bbiri okutomeragana mu mbiriizi za kabangali yaayo, era abaserikale ne bayamba okumutwala mu ddwaaliro. Kyokka poliisi esuubizza okwongera okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Yagambye nti oli bw'atta omuntu wo,tomuwa mukisa mulala kutta waakubiri. Nti poliisi ezze etta abawagizi ba People Power abawerako okuli; Ziggy Wine, Sweet Pepsi, Yasin Kawuma n'abalala naye ng'ekyewuunyisa nti abalina okubakuuma ate be babatta.
Wano we yasinzidde okugamba nti abantu baba balina okwerwanako bwe balaba ng'eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka lirinnyirirwa.
Bobi Wine eyabadde mu kuziika Nabukenya e Nabwendo mu ggombolola y'e Muwanga mu disitulikiti y'e Kiboga eggulo yasabye Bannayuganda okuvaayo n'amaanyi beerwaneko kubanga banyigiriziddwa ekisembayo.
Yagambye nti emirundi mingi Bannayuganda bazze bayita mu kunyigirizibwa okw'enjawulo naye nga tebalina gye baloopa. Yajulizza oluyimba lwa ‘Situka Otambule' ng'agamba nti kino ky'ekiseera okwerwanako okuggyako nga Pulezidenti Museveni agambye ku basajja be bakendeeze ku bukambwe bwe bakozesa.
Nti ku luno tebagenda kusirika nga bwe bazze bakola. Yeebuuzizza nti lwaki Gavumenti eri mu buyinza yagenda mu nsiko ng'egamba nti erwanirira ddembe ly'abantu ate nga kati y'ekaabya Bannayuganda amaziga agajjulujjulu.
Nabukenya yafudde ku Mmande e Nakawa okuliraana akatale bwe yabadde ku bboodabbooda. Poliisi egamba nti bboodabbooda kwe yabadde yatomereganye ne ginnaayo eyabadde eva erudda n'afa olw'ebiwundu.
Wabula Bobi Wine alumiriza kabangali ya poliisi okutomera bboodabbooda Nabukenya kwe yabadde n'afa.
Eyali RDC wa Kampala, Aisha Kabanda nga kati wa People Power era nga y'omu ku bakulembeze mu disitulikiti y'e Butambala yasabye abakyala okuvaayo n'amaanyi nti kubanga ebintu ebinyigiriza abantu essaawa eno bisinga kukwata ku bakyala ate nga n'eyattiddwa naye mukyala.
Yabasabye bakkirize bamme babba baabwe akaboozi ababa bagaanye okugenda n'enkyukakyuka z'ebyobufuzi eziriwo nga bagoberera People Power.
Flavia Kalule akulembera abakyala mu People Power yagambye nti okutta Nabukenya libadde ddibu ddene era ekisinde kyabwe baakikubye awaluma kubanga abadde muvumu nnyo.
Yagambye nti yamusisinka n'amutegeeza nga bw'ali omuwala omuto ate alina abaana naye asazeewo alwanyise Gavumenti abaana be bafune emirembe mu maaso eyo era afudde ky'ekirooto kye.
Yasabye abazadde obutassa mutima gwa kutya mu baana baabwe kibalobere okubeera abaddu mu nsi yaabwe.
Agamba nti ekiseera kino abaana beetaaga amasomero amalungi n'amalwaliro naye nga bayinza kubifuna nga bali mu bufuzi obw'ekyenkanyi ekiyinza okutuukibwako nga bamaze kusindiikiriza Gavumenti eriko.
Yamalirizza ng'agamba nti abakyala balina okulwana kubanga be basinga okukwatibwako.
Omubaka wa munisipaali y'e Mityana, Francis Butebi Zaake, yakolokose Gavumenti nti abasajja Pulezidenti Museveni be basse omwana omuto kubanga yabadde ayambadde ebyambalo by'ekisinde kya People Power.
Yanenyezza Palamenti olw'okusirika ng'abantu battibwa n'etavaayo ku nsonga eyo n'eragira ddala nti abantu bali ku lwabwe ne Palamenti eri ku lwayo.
Okuziika kwabaddeko ba People Power okusinga nga bambadde bimyufu n'obukofiira nga buli akwata akazindaalo asuubiza birungi byereere nga Bobi Wine atuuse mu bukulembeze.
Aba Team Kyagulanyi, Nabukenya mw'abadde nga y'akulira abawala baakaabye n'abamu ne bazirika.
David Ssegawa bba w'omugenzi yayogedde bitono n'agamba nti abasajja baamukubye nnyo awabi kubanga mukyalawe amulekedde abaana bato nnyo abeetaaga okukula ne maama waabwe era awo we yakomye n'akaaba.