TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Added 26th February 2020

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Bya Gerrald Kikulwe

MU Pepsi University League

LEERO KU LWOKUSATU 

KIU - UCU

NGA Uganda Christian University(UCU) bannantameggwa ba liigi ya yunivasite omwaka oguwedde baakamegga IUIU mu maka gaabwe e Mukono, leero(Lwakusatu) balumbye Kampala International University(KIU) e Nsambya mu miti.

Bano sizoni gye bakyasembyeyo okusisinkana(2017) tewali yafuna buwanguzi ku munne. Baali mu kibinja kimu nga newankubadde KIU teyava mu kibinja  naye yaggya akabonero e Mukono (1-1) ate e Nsambya (0-0).

Jimmy Kintu atendeka UCU agamba nti omupiira gugenda kuba muzibu nnyo naddala mu kiseera kino nga ttiimu emu yokka y'eva mu kibinja era n'agukwasa Katonda asalewo ebinaaguvaamu.

"Amazima guno omupiira Mukama y'amanyi ebinaaguvaamu,tugenda kunona buwanguzi naye nga nkimanyi tegugenda kuba mwangu," Kintu bwe yategeezezza.

Jeff Akabwai atendeka KIU agattako ng'awera, "Mbadde musambi wa yunivasite liigi okuva ng'etandikawo mu 2012, ate kati mwe ntendeka,mmanyi buli mutendesi n'obukodyo bwe, ate bwe kituuka ku Kintu oyo ye mutegeera bulungi, guno ng'enda kuguwanguza bumanyirivu bwange mu liigi ate n'omukisa gw'awaka."

Hannington Ampirwe owa UCU ne Briton Asiimwe owa KIU babuusibwa buusibwa okuzannya ogwa leero olw'obuvune.

Ttiimu zombi zeekanya obubonero(3) ku ntikko y'ekibinja B wabula UCU esinzaako enjawulo ya ggoolo emu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...