TOP

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero

Added 26th February 2020

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa

 Ttiimu ya Miss Uganda nga bagabira abayizi paadi

Ttiimu ya Miss Uganda nga bagabira abayizi paadi

Mu kawefube w'okulaba nga abaana ab'obuwala tebava mu masomero nga tebannamalako,

Ab'ekitongole kya Miss Uganda Foundation basse omukago n'aba AFRIpads okutalaaga amasomero nga bagabira abayizi abawala paadi ez'omulembe ng'erimu ku makkubo okulwanyisa ekizibu ky'abayizi abayosa n'okudduka mu somero.

Nga batongoza enkolagaana eno ku mukolo ogwabadde ku somero lya Namugoona High School e Namungoona gye bagabidde abayizi abasobye mu 100 paadi ssaako okubabuulirira n'okubasomesa ku nkozesa yaazo.

 ba pads nga bakwasa aba iss ganda ezimu ku paadi zokugaba Aba AFRIpads nga bakwasa aba Miss Uganda ezimu ku paadi z'okugaba.

Brenda Nanyonjo eyakulembeddemu ttiimu ya Miss Uganda yategezezza nti  okunoonyereza okuze kukolebwa kulaga abawala bangi abamala wakati w'ennaku 15 ne 20 buli ttamu nga tebagenze kusoma buli lwe batuuka mu kiseera ky'okugenda mu nsonga z'ekikyala.

Nanyonjo agamba olw'embeera y'ebyenfuna mu bantu, abazadde bangi tebasobola kugulira baana babwe paadi ate  olw'okutya okuswala mu bannabwe, ekiseera ky'okugenda mu nsonga z'ekikyala bwekituuka abawala abamu basalawo okusigala awaka ate abalala bibatama n'eby'okusoma ne babivako.

 anyonjo ngabuulirira nokusomesa abayizi ku paadi Nanyonjo ng'abuulirira n'okusomesa abayizi ku paadi.

Gertrude Adeker Emojong kulwa AFRIpads yategezezza nti mu ntekateeka eno etuumiddwa ‘school girl kit' abayizi bagenda kubawa paadi ezisobola okukozesebwa okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero.

Ye Ronald Ssemaganda akulira esomero lino yasiimye enteekateeka eno, agamba omulamwa gwe baliko mukulu kubanga ekizibu kino kikosezza nnyo abaana era ne gavumenti yeetaga okusituukiramu okuyamba ku masomero n'abazadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....