
NABBAMBULA w'omuliro akutte ekibanda ky'emmotoka ewa Bakuli n'asaanyaawo ebintu ebitannamanyika muwendo. Ekibanda ekyakutte omuliro kiyitibwa Bawazi ekiri emabega w'essundiro ly'amafuta erya Shell Bakuli nga gwakutte ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro. Abaserikale abakuuma ekifo kino beekanze okulaba omuliro nga gutuntumuka kwe kukubira poliisi eguzikiza omuliro.
Okusinziira ku baabaddewo ng'omuliro guno gutandika, gwavudde mu buyumba obuli emabega w'ekibanda kino awali omukyala afumba obuugi olwo ne gukwata konteyina eterekebwamu ebintu ku kibanda kino byonna ebyabaddemu ne bisaaanawo.
Mu bintu ebyaggyiiridde mu konteyina eno mwabaddemu kompyuta ezisoba mu 30, ensimbi enkalu, ebiwandiiko eby'ebbeeyi ng'ebyapa n'endagaano okwo gattako emmotoka ekika kya Range Rover eyabadde eriraanye konteyina eno.
Poliisi ekola ku kuzikiza omuliro yalwanye bwezizingirire okuzikiza omuliro guno, era omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza omuliro guno kyokka n'alabula abantu abafumbira mu bifo eby'olukale okuba abeegendereza nga bakola emirimu gyabwe nga beewala okuleka omuliro nga tebaguzikizza.