TOP

Abatuuze b'e Nsangi batabukidde poliisi

Added 27th February 2020

Abatuuze b’e Nsangi batabukidde poliisi

 Susan Ikuuku ng’ayogera eri abatuuze.

Susan Ikuuku ng’ayogera eri abatuuze.

ABATUUZE batadde akulira poliisi y'e Nakitokolo mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso ku nninga nga baagala abannyonnyole ekivuddeko ettemu okweyongera mu kitundu kyabwe.

Baabadde mu lukiiko lw'ekyalo ku kisaawe ky'e Nakitokolo olwayitiddwa okutema empenda ku ngeri gye basobola okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obususse mu kitundu kyabwe.

Abapoliisi n'aba LDU baayiiriddwa mu kifo owaabadde olukiiko oluvannyuma lw'okufuna amawulire ng'abatuuze bwe baabadde bategekka okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu ku ngeri ebyokwerinda gye bikwatiddwaamu mu kitundu kino.

Akulira poliisi y'e Nsangi, Susan Ikuuku yategeezezza abatuuze nga bwe balina okukolagana ne poliisi okumalawo obumenyi bw'amateeka nga baloopa abantu ababwenyigiramu.

"Njagala okubagumya nti singa munaakolera awamu naffe, obumenyi bw'amateeka bugenda kulinnyibwa ku nfeete era nga kati twasazeewo amakanda tugasimbe mu katundu akamanyiddwa nga Bengaazi oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti abamenyi b'amateeka we basinziira okutigomya abantu", Ikuuku bwe yabagumizza.

Mu bbanga lya mwezi gumu gwokka abantu basatu be battiddwa mu Town Council y'e Kyengera nga n'eyaakasembayo okuttibwa ye musawo Francesico Nassazi ku Lwokibiri lwa wiiki ewedde omulambo gwe ne gusuulibwa mu bitundu bw'e Namagoma.

Kyokka ng'olukiiko luno terunnaba kutandika, poliisi yasoose kuyimiriza omupiira ogwabadde gutegekeddwa kkansala w'ekitundu kino, Ali Ssennyonnyo. Ikuuku bwe yabuuziddwa ensonga eyaviriddeko omupiira guno okusazibwamu, yagambye nti omutegesi w'empaka zino teyagoberera mateeka.

Kino kyaggye abatuuze mu mbeera ne batandika okwogerera poliisi ebisongovu nga bagamba nti okubalemesa omupiira kwabadde kubaggyako ssembe lyabwe.

Ali Ssennyonjo ng'ono munnakisinde kya People Power era nga ye yabadde ategese empaka zino yavumiridde ekikolwa kya poliisi, n'agamba nti yali yabawandiikira n'akulira poliisi yagendayo n'amusisinkana ku nsonga eno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...