TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Omubaka Peter Sematimba gy'ayiseemu ebigezo bya senior 6

Engeri Omubaka Peter Sematimba gy'ayiseemu ebigezo bya senior 6

Added 27th February 2020

Engeri Omubaka Peter Sematimba gy'ayiseemu ebigezo bya senior 6

 Peter Ssematimba ebibuuzo bya senior 6 abiwuuse buva

Peter Ssematimba ebibuuzo bya senior 6 abiwuuse buva

OMUBAKA wa Palamenti owa Busiro South, Peter Ssematimba kati aliisa buti oluvannyuma lw'okuyita ebigezo bya Senior 6.

Sematimba afunye points 13 mu masomo omuli eby'eddiini (Div D- 3), Ebifaananyi Fine Art (B-5),Olulimi olungereza Literature (D-3),(General Paper 6-1) ne Computer 4)

Ono ebigezo bino yabikolera ku Kakoola High School erisangibwa mu ggombolola y'e Bamunaanika mu disitulikiti y'e Luweero mu ssaza ly'e Bulemeezi.

Essomero lino lya Minisita omubeezi avunanyizibwa ku by'enjigiriza ebyawaggulu, Dr. JC Muyingo nga Ssematimba yabadde omu ku bayizi 126 abatuulira ebigezo mu ssomero lino.

Omukulu w'essomero lino,Mike Wagaba ategeezezza Bukedde nga Ssematimba bwabadde omuyizi awa buli musomesa ekitiibwa nga kino ky'ekimu kwebyo byasuubira nti byebimuyambye okuyita ebigezo bino.

"Omubaka Ssematimba abadde muyizi wa njawulo ng'awa abasomesa be ekitiibwa awatali kutambulira mu bitiibwa n'ettuttumu byalina. Kino kikulu kubanga buli musomesa abadde amwanguyira ate ng'akola essomero byeriragira," Wagaba bweyagambye.

Ekirala ekibadde, eky'enjawulo ku Ssematimba, y'enkolagana ennungi gyabadde nayo  ne bayizi banne nga Enock Lutaakome eyafunye obubonero 18 mu bigezo yategezezza nga bwebabadde benyumiriza mu mubaka Ssematimba ng'era bamwenyumirizaamu.

"Bwetwamulaba ng'azze okutwegattako okukola ebigezo netuddamu amaanyi n'essuubi nti olaba omuntu ow'ettuttumu bwati asazeewo okujja tutuule naye ebigezo awo naffe netweyogera okukaza ebitabo," Lutaakome bweyategezezza Olupapula luno.

Mu 2016, Omulamuzi Lydia Mugambe yafumuula Omubaka Ssematimba mu Palamenti ng'amulanga butabeera na biwandiiko bya buyigirize biwera nga wadde byeyali awaddeyo byali bikkiriziddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku by'enjigiriza ebya waggulu.

Wabula mu September 2017,abalamuzi mu kkooti ejulirwamu, Ssematimba gyeyaddukira, nga bakulemberwa Omulamuzi Steven Kavuma bakkiriziganya n'okwewozaako nga kwa Ssematimba nti ebiwandiiko byalina bimusobozesa okusigala mu Palamenti nga bagamba nti gweyavuganya naye Stephen Ssekigozi,teyaleeta bujulizi bumala kulumika Ssematimba nti talina biwandiiko bimubeeza mu Palamenti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Aba P7 bafunye ebinaabayisa...

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE....