TOP

Katikkiro w'ekika ky'Emmamba alekulidde

Added 1st March 2020

OBUNKENKE bweyongedde mu kika ky’Emmamba (Gabunga), Katikkiro Omutaka Luyombo Kagenda bw’alekulidde olw’enjawukana n’entalo ezisusse mu kika.

 Luyombo (ku ddyo) ng’addiriddwa Gabunga mu lukiiko olumu gye buvuddeko. Ayimiridde ye Dr. Kimala.

Luyombo (ku ddyo) ng’addiriddwa Gabunga mu lukiiko olumu gye buvuddeko. Ayimiridde ye Dr. Kimala.

Ebbaluwa erekulira yagiwandiikidde Gabunga Mubiru Zikwa nga Febuary 28, 2020, n'amutegeeza nti;

"Kinnuma okukuddiza obwami, kyokka nkikoze olw'enjawukana eziri mu kika n'entalo eziri mu bazzukulu bo. Ndekulidde bwe kiba nga (okulekulira) kye kigenda okutuyamba okwegatta n'okutwala emirimu gy'ekika mu maaso".

Mu bbaluwa, Kagenda yayiseeyise mu bimu ku by'atuuseeko n'olukiiko lwe mu kiseera ky'amaze ku bwakatikkiro okuli; eky'okulambika Ssaabasajja nti ekika kyabwe bakitambuliza ku nnono n'enkulaakulana bwe yabalambula ku butaka e Sagala omwaka oguwedde (2019), pulojekiti ez'enjawulo Nkajja ne Gabunga Educational Center; okuwandiisa ettaka ly'ekika mu ba "trustees", okuwa Gabunga omukisa okwetengerera ng'alamula ekika kye, okulongoosa ekiggwa kye Bubiru n'ebirala bye yagambye nti yabibalambikira mu lukiiko lw'ekika gye buvuddeko.

Wabula ensonda zaalaze nti okulekulira kuno Gabunga yakugaanye era n'amusaba okugira ng'asigala mu kifo kye okutuusa bwe baneetereeza ng'ekika.

Bino we bijjidde nga Gabunga yaakamala okuwummuza olukiiko lwe olukulemberwa Luyombo okumala emyezi 6 olwa kye yayise obutamuwa lipoota ku ssente z'okuggulawo bbanka y'ekika n'okumugulira mmotoka ye.

Ebbaluwa ewummuza olukiiko yasomeddwa George Ssenkaali, omu ku bawi b'amagezi ba Gabunga ab'oku ntikko mu lukiiko lwa bannamawulire olwakubiddwa ku ofiisi y'ekika e Lubaga gye buvuddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....