TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawannyondo bazinzeeko amaka ga Abdallah Kitatta

Bawannyondo bazinzeeko amaka ga Abdallah Kitatta

Added 1st March 2020

BAWANNYONDO ba kkooti bazinzeeko amaka g’eyali omuyima w’ekibiina kya boodabooda 2010 Abdallah Kitatta agasangibwa mu zzooni ya Masannyalaze e Najjanankumbi ne baagala okufulumya ebintu by’abantu ababeerawo.

 Ekikomera omuli amaka ga Kitata(ku ddyo) ge baabadde bazze okutwala.

Ekikomera omuli amaka ga Kitata(ku ddyo) ge baabadde bazze okutwala.

Ssentebe w'omu kitundu ekyo, Muhammad Ssekandi yagambye nti bawannyondo nga bayambibwako poliisi y'e Katwe baazinzeeko amaka ga Kitatta ku Lwokusatu ku ssaawa nga 4:00 ez'oku makya ne baagala okufulumya ebintu.

Ssekandi yagambye nti bano baagenze mu maka ago ne basangayo omukozi w'awaka yekka gwe baalagidde okubaggulirawo kubanga babadde balina ekiwandiiko kya kkooti ekibagoba mu nnyumba eyo.

Ssentebe yagambye nti oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti waliwo abantu ababadde balumbye amaka ga Kitatta yasitukiddemu n'abasanga. Yagambye nti yababuuzizza kye bakola mu kitundu nga tebasoose kumutegeeza ku kujja kwabwe.

Bano baamutegeezezza nga bwe baabadde bategeezezza poliisi y'e Najjanankumbi etwala ekitundu ekyo wabula oluvannyuma lwakaseera nga basika omuguwa bakkiriza ne bava mu kikomera.

Yagambye nti okusinziira ku kye yategeddeko bawannyondo balina enkaayana n'omuntu eyaguza Kitatta ettaka okuli ennyumba eyo nga kiyinzika okuba nga ye nsonga lwaki baabadde bagobamu abantu ababadde babeeramu.

Omu ku bantu ababadde babeera mu maka ago ayitibwa Yasin yategeezezza nti ye mupangisa era teyabaddewo awaka mu kiseera bawannyondo mwe bajjidde kubanga tebaasooka kubagamba nti bajja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti kituufu bawannyondo baagenze mu maka ga Kitatta nga bayambibwako poliisi y'e Kibuye ne baagala okutuukiriza ekiragiro kya kkooti naye ne balemesebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...