TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssematimba bamusabye ensaasaanya ey'obukadde 500

Ssematimba bamusabye ensaasaanya ey'obukadde 500

Added 2nd March 2020

AB’OLUKIIKO olw’ekiseera olukulembera abavuzi ba ttakisi mu Kampala batadde obukwakkulizo ku eyali ssentebe wa KOTSA, Hajji Yasin Ssematimba.

 Okapi (ku kkono), Katumba ne Musajjalumbwa nga boo- gerako eri bannamawulire ku by’okudda kwa Ssematimba.

Okapi (ku kkono), Katumba ne Musajjalumbwa nga boo- gerako eri bannamawulire ku by’okudda kwa Ssematimba.

Bamusabye asooke awe baddereeva ensaasaanya ya ssente obukadde 500 ezaabaweebwa Pulezidenti oba si ekyo tebagenda kumukkiriza kudda mu mulimu gwa ttakisi.

Akola nga ssentebe ow'ekiseera, Kalifhan Musajjalumbwa ng'ali n'omuwanika, 

William Katumba n'omwogezi Simon Okapi, baasinzidde mu ofiisi yaabwe ku Royal Complex ne bawera nti si baakukkiriza Ssematimba kwenyigira mu bukulembeze bwa ttakisi okuggyako ng'alaze ensaasaanya y'obukadde 500.

Bino biddiridde Ssematimba okulangirira okudda kwe mu bukulembeze bwa ttakisi.

Ssematimba yakomeddewo mu kibiina ekimanyiddwa nga Amalgameted Taxi Stages Taxi, Drivers and Conductors Assocaition Limited, (ATSDCA) mwe yalondeddwa ng'omuyima.

Ekibiina kino kikulemberwa Hajji Badru Sserunjogi.

Ssematimba bwe yatuukiriddwa ku ssimu yategeezezza nti ensonga enkulu emukomezzaawo kugatta bantu nti era si mwetegefu kwenyigira mu lutalo na muntu yenna.

Ku nsonga za ssente obukadde 500, Ssematimba yannyonnyodde nti tazirinaamu mukono era n'awa baddereeva amagezi okutuukirira abantu abatuufu babawe ensaasaanya kubanga ye ng'omuntu ebya ssente ezo tebimukwatako.

Wabula, Musajjalumbwa yalumirizza Ssematimba okwenyigira mu mivuyo gyonna egibadde gizihhamizza omulimu gwa ttakisi omuli okubulankanya ssente za baddereeva.

Yanokoddeyo n'ensimbi obukadde 500 Pulezidenti ze yawa baddereeva kyokka ne zitatuuka.

Yagambye nti Ssematimba azze agunjaawo obubiina obw'enjawulo okusobola okweremeza mu bukulembeze bwa ttakisi kyokka nti ku mulundi guno tebajja kumukkiriza olw'ensonga nti baakizudde ng'ebigendererwa bye bikonta n'ebya Gavumenti. Musajjalumbwa yalumirizza Ssematimba okukozesa obubi ekifo kye n'atulugunya baddereeva omuli okubasiba n'okubakwatira mmotoka zaabwe awatali nsonga.

Baddereeva baagala Ssematimba annyonnyole ku bino byonna nti ssinga takikola, bo si beetegefu kukolagana naye.

Katumba yawadde Ssematimba amagezi obutagezaako kukozesa kifuba okweremeza ku bukulembeze bwa ttakisi wabula addeko ebbali naye alabe ebintu bwe bitambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...