TOP

Eyaloopa Sematimba amwewuunyizza okutuula S6

Added 4th March 2020

EYAVUGANYA ku kifo ky’omubaka wa Busiro South, Stephen Sekigozi yeemulugunyizza ku ngeri kkooti ejulirwamu gye yasala omusango ng’ekkiriza obuyigirize bwa Peter Sematimba ate nnannyini biwandiiko n’amala n’addayo n’atuula S6.

 Stephen Ssekigozi eyawawaabira Peter Ssematimba obutasoma

Stephen Ssekigozi eyawawaabira Peter Ssematimba obutasoma

EYAVUGANYA ku kifo ky'omubaka wa Busiro South, Stephen Sekigozi yeemulugunyizza ku ngeri kkooti ejulirwamu gye yasala omusango ng'ekkiriza obuyigirize bwa Peter Sematimba ate nnannyini biwandiiko n'amala n'addayo n'atuula S6.

Oluvannyuma lwa Sematimba okuwangula obubaka bwa Busiro South, Sekigozi omu ku baali bawanguddwa yeekubira enduulu mu kkooti ng'awakanya obuwanguzi bwe.

Sekigozi eyazze mu ofiisi za Bukedde yagambye nti yawaaba mu Kkooti Enkulu nga February 16, 2016 kuba yali afunye obujulizi nti Sematimba yali ajingiridde empapula z'obuyigirize.

Omulamuzi Lydia Mugambe mu nsala gye yawa nga June 9, 2016 yasazaamu obuwanguzi bwa Sematimba.

Yanenya akakiiko akavunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu olw'okulemwa okukola okunoonyereza okuzuula oba ng'ebiwandiiko bya Sematimba ebya dipuloma y'ebyamasannyalaze n'ebyakompyuta bituufu bye yafunira mu Amerika.

Kyokka Sematimba bwe yajulira, abalamuzi okwali; Catherine Bamugemereire, Steven Kavuma ne E. Balishaki mu nsala gye baawa nga September 17, 2017 baasazaamu ensala ya Mugambe ne balagira Sematimba asigale mu Palamenti.

Sekigozi agamba nti abalamuzi baamulagira okuliwa obukadde 360 olw'okuwa kkooti obujulizi obutamatiza. Kyamwewuunyisizza ate okulaba ng'omuntu kkooti gwe yagamba nti yasoma yazzeemu n'atuula S6.

"Kkooti nagiraga ekituufu nti empapula za Sematimba ze yakozesa tezaalina sitampu ya UNEB kyokka ne balaga nti yasoma. Ddala lwaki nsasula ssente kkooti ze yansaba ate ng'amazima gazuuse nti yali teyasoma," bwe yagambye.

Sekigozi yasabye Ssaabalamuzi Bart Katureebe okwekenneenya ffayiro eno.

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...