TOP

Lukwago akubye ebituli mu bbaasi za 'Tondeka'

Added 4th March 2020

LOODI Mmeeya Erias Lukwago akubye ebituli mu nteekateeka y’okuleeta bbaasi za ‘Tondeka’ n’ategeeza nti waliwo abanene abaziri emabega abaagala okunyagirako ssente z’omuwi w’omusolo.

 Lukwago akubye ebituli mu bbaasi za ‘Tondeka’

Lukwago akubye ebituli mu bbaasi za ‘Tondeka’

Yasinzidde mu kakiiko ka Palamenti akakola ku by'obusuubuzi akakubirizibwa Robert Kasule Sebunya (Nansana munisipaali) akabuuliriza ku nteekateeka z'okuleeta bbaasi mu bitundu bya Kampala n'emiriraano.

Lukwago yawadde ensonga munaana kw'asinziira okuwakanya ebya bbaasi naddala ey'obutamanya bannannyini kkampuni ba bbaasi zino.

1 Yagambye nti wadde yawandiikira ekitongole ekiwandiisa amakampuni ng'abuuza bannyini yo, tebamuddangamu.

2 Lukwago yagambye nti bannannyini baazo banene mu Gavumenti abeerimbise mu kkampuni eno okusobola okunyagirako ssente z'omuwi w'omusolo. Yayongeddeko nti yakiteegerako nti kkampuni yeetaaga bbiriyoni 600 ezigenda okwewolebwa Gavumenti okuva mu bbanka ya Exim e Buyindi.

3 Lukwago yeewuunyizza lwaki pulojekiti ya bbaasi tebagikwasa KCCA evunaanyizibwa ku kuddukanya ekibuga okusinga okwesiga abantu ssekinnoomu.

4 Loodi mmeeya yagambye nti kkampuni eno terina nteekateeka erambuluddwa ku ngeri gy'egenda okukolaganamu n'ekitongole kya KCCA ne Gavumenti ya wakati.

5 Embeera y'enguudo embi eziri mu mu kibuga tesobozesa bbaasi zino kutambuliramu. Ku kkiromita 21,000 ez'enguudo eziri mu kibuga, kuliko 608 zokka ezikubiddwa kkolaasi. Ezisigadde zijjudde ebinnya ebitasobozesa bbaasi ennyimbi okutambuliramu obulungi.

6 Lukwago yeebuzizza ekigenda okukolebwa ku kkampuni za bbaasi ezisangiddwa mu kibuga nga Pioneer Easy Bus ne Awakula Ennume ze yagambye nti zirina ebifo we zisimba.

7 Lukwago yagambye nti KCCA ebadde n'enteekateeka nnene ey'okutereeza ebyentambula mu kibuga era bbanka y'ensi yonna egiteekamu ssente. Yeebuuza bbaasi ezireetebwa oba nga teziikozese nteekateeka ebaddewo enaatera okwanjulwa ekiseera kyonna kuba nayo erimu bbaasi.

8 Gavumenti olw'okuba tefuddeeyo kuyigira ku kkampuni ya Pioneer eyagwa, ensobi ze zimu ze bazzeemu era Lukwago yalabudde nti nayo ejja kugwa, kyokka ekibi ng'emaze okukozesa ssente y'omuwi w'omusolo.

Loodi Mmeeya yasabye Palamenti obutayisa ssente zonna za kwewola okuyamba kkampuni ya Tondeka kuba talabanga ku musigansimbi ajja mu ggwanga nga talinaamu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...