TOP

'Mubunyise yintaneeti mu ggwanga'

Added 4th March 2020

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ebunyise yintaneeti mu ggwanga kiyambe okutumbula ebyempuliziganya.

 Katikkiro ng’ayanirizza minisita Nabakooba e Mmengo.

Katikkiro ng’ayanirizza minisita Nabakooba e Mmengo.

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ebunyise yintaneeti mu ggwanga kiyambe okutumbula ebyempuliziganya.

Bino yabyogeredde Bulange - Mmengo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bwe yabadde ayaniriza Minisita w'amawulire, tekinologiya n'okuluhhamya eggwanga Judith Nabakooba eyamukyalidde. "Ensi kati efugibwa tekinologiya ng'atamulina talina kyasobola kukola.

Noolwekyo gavumenti esaanye ebunyisa yintaneeti kubanga eriko amawulire mangi,ag'omugaso eri omuntu," Mayiga bwe yasabye.

Katikkiro yawabudde gavumenti okukozesa obulungi aboogezi b'ebitongole byayo, bateeke essira ku kuwa bannansi amawulire agakwata ku nkulaakulana era agabatwala mu maaso okusinga okwogera ebyobufuzi byokka buli kadde.

Ku kulondebwa kwa Nabakooba, Mayiga yamukulisizza n'amutegeeza nti minisitule gye yaweereddwa nkulu ku nkulaakulana y'eggwanga.

Mu kwogera kwe, Nabakooba yasabye Mmengo okuyamba ku gavumenti eyawakati ng'etuusa amawulire n'obubaka bw'enkulaakulana eri bannansi kubanga waliwo abantu bangi abassa ekitiibwa mu kigambo ekiva mu Bwakabaka.

"Ssebo Katikkiro nkwebaza olwa kaweefube akolebwa okukulaakulanya abantu b'Obwakabaka naddala mu nteekateeka y'emmwaaanyi terimba", bwe yamwebazizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...