TOP

Gen. Tumukunde azze okwesimba ku Museveni

Added 4th March 2020

MUNNAMAGYE, Lt. Gen. Henry Tumukunde awandiikidde akakiiko k’ebyokulonda ng’akategeeza ku nteekateeka ze ez’okwebuuza ku Bannayuganda alyoke asalewo ku ky’okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.

Tumukunde, eyali minisita w'obutebenkevu, ebbaluwa ye eri ssentebe w'akakiiko kano, Simon Byabakama, yagiwandiise nga February 28, 2020. Mu kakiiko k'ebyokulonda yatuuseeyo nga March 3, 2020 n'ekoonebwamu sitampu okukakasa nti bagifunye.

Omwogezi w'akakiiko kano, Jotham Taremwa yakakasizza nti ebbaluwa ya Tumukunde baagifunye era bakama be bateekateeka okumuddamu nga bamuluhhamya ku by'alina okukola nga tannagenda mu bantu.

Omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo yagambye nti Tumukunde wa ddembe nga Munnayuganda omulala yenna alina ebisaanyizo okwesimbawo kyokka n'amukubamu ebituli nti embeera ze n'enneeyisa ye biyinza obutamutwala wala.

Mu bbaluwa ye, Tumukunde, omu ku bannansiko okuva mu lutalo lw'e Luweero era amagye yagannyuka mu 2015.

Yategeezezza nti ennyingo nnamba ssatu mu tteeka erifuga okulonda kwa Pulezidenti, liwa olukusa omuntu yenna eyagala okwesimbawo ku Bwapulezidenti okugenda mu bantu okubeebuuzaako ng'ebula emyezi 12 kimuyambe okweteekateeka.

Yajulizza ssemateeka ajjukiza ebyafaayo bya Uganda nti bimanyiddwa nnyo nti byalimu obutabanguko bw'ebyobufuzi n'agamba nti bino byonna mwetegefu okuzimba Uganda empya eyeeyagaza buli omu naddala okutereeza ebyenfuna ebyetengeredde, ebyobufuzi ebirungi n'enfuga ey'amateeka.

Yawadde ezimu ku nsonga lwaki ayagala okutalaaga eggwanga okwebuuza ku bantu n'agamba nti, agenderedde okukikola nga tannasalawo kuggyayo mpapula za kwewandiisa mu butongole okusuubirwa okubeerawo mu October omwaka guno.

Tumukunde agambibwa nti yaggyiddwaako abakuumi aba UPDF, n'agattako nti, yayagadde okuwa ekitiibwa amateeka g'ebyokulonda bwe galambika omuntu alamuza entebe y'Obwapulezidenti, okusooka okuwandiikira akakiiko mu butongole ng'alaga bwe yeeteeseteese okuvuganya.

Yayongeddeko nti, asuubira okusisinkana abantu okuva mu bibiina by'ebyobufuzi eby'enjawulo, ebitongole by'ebyokwerinda, abantu mu byalo n'okusingira ddala abalimi, n'abali mu bibuga nga mwe muli abavubuka, abakyala n'abasuubuzi banneekolera gyange gattako abakadde.

Kuno yagasseeko nti, asuubira okusisinkana n'abakozi b'ebitongole bya gavument abali ku mutendera gw'eggwanga waggulu ne gavumenti ez'ebitundu, ebibiina by'obwannakyewa, abakulembeze b'enzikiriza era ajja kwebuuza ku bamanyi ku byokwerinda by'ekitundu n'ensi yonna yeebuuze ne ku bakugu ku byenkulaakulana y'ebitundu by'abantu mwe bava n'engeri y'okuluhhamya ebyobufuzi mu ggwanga.

Agamba nti, yeegatta ku Bannayuganda abalimu ensa okuwagira enkyukakyuka n'emirembe gye baasuubiza bwe baali mu nsiko n'okukyusa obukulembeze mu mirembe okuva ku mugigi ogumu okudda ku mulala awatali kuyiwa musaayi.

Yawunzise ebbaluwa ye ng'agamba nti asuubira nti akakiiko k'ebyokulonda kajja kumusobozesa ne ttiimu ye okugenda mu maaso n'okwebuuza ku kwesimbawo ku kifo ky'Obwapulezidenti nga tataataaganyiziddwa n'agamba nti, asuubira nti ebitongole ebikwatibwako binaawa ekitiibwa okusaba kwe mu bbanga lyonna ly'agenda okumala nga yeebuuza ku bantu.

Etteeka erifuga okulonda kwa Pulezidenti erya 2005, ennyingo eyookusatu, akawaayiro nnamba emu, awa eddembe omuntu ayagala okuvuganya ku Bwapulezidenti okusooka okwebuuza ku bantu nga wabula omwaka mulamba nga tanaggyayo mpapula za kwewandiisa ku kifo kino.

Tumukunde bwe yabadde awandiika ebbaluwa ye, yagambye nti atuukiriza ennyingo nnamba bbiri akatunda ‘A' akamulambika okusooka okuwandiikira akakiiko k'ebyokulonda nga tannatalaaga ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...