TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nakiwala akunyizza Mutabazi ku bya Fresh Kid

Minisita Nakiwala akunyizza Mutabazi ku bya Fresh Kid

Added 4th March 2020

PAUL Mutabazi taata w’omuyimbi Fresh Kid atuuyanidde mu ofi isi ya minisita akola ku nsonga z’abaana bwe babadde bamubuuza akana n’akatano ku mbalirira n’ensaasaanya ya ssente Fresh Kid z’afuna mu kuyimba.

 Minisita Nakiwala Kiyingi ng’akunya Mutabazi ne Katende.

Minisita Nakiwala Kiyingi ng’akunya Mutabazi ne Katende.

Minisita Florence Nakiwala Kiyingi yayise Mutabazi ne maneja wa Fresh Kid, Dennis Katende bamulage we batuuse mu kutereka ssente z'omwana ze yabalagira nga zino zaakugyibwayo nga Patrick Ssennyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid awezezza emyaka 18 ssente zino zimuyambeko okubaako kye yeetandikirawo mu bukulu.

Wakati mu kukunya Mutabazi, minisita kyamubuuseeko bwe yakizudde ng'ono akawunti gye baamugamba okuggulawo mu mannya ga Ssennyonjo teyagiggulawo wabula yaggulawo akawunti eri mu mannya ge (Mutabazi) n'ag'omwana Fresh Kid.

Minisita eyabadde omunyiivu yabatabukidde ng'agamba nti kino kye bakola bafi iriza mwana kubanga obudde bugenda kutuuka ng'akuze nga yeetaaga ssente okubaako ky'akola nga teziriiwo kyokka bbo kati balya ku ntuuyo ze.

Mutabazi mu kwewozaako yategeezezza minisita nga bwe yagezaako okuggulawo akawunti ey'enjawulo gye baamulagira n'alemwa y'ensonga lwaki yaggulawo eri mu mannya ag'ababiri.

 aul utabazi ku kkono  wongo ne ennis atende ewa minisita akiwala Paul Mutabazi (ku kkono) , Bwongo ne Dennis Katende ewa minisita Nakiwala.

 

Yayongeddeko nti Fresh Kid okuva lwe yafuuka ssereebu bamusaasaanyako ssente nnyingi olumu okusinga ne z'akola era beesanga nga tebalina ze bafi ssizzaawo okumuterekera.

Yawadde eky'okulabirako ekya ssente obukadde 7 ze baggya ku akawunti okugulira Fresh Kid mmotoka kika kya Toyota Wish ng'eno baasigala bababanja bbalansi.

Minisita mu kuwabula ono yamujjukizza endagaano gye baakolera mu ofiisi ye erung'amya ensaasaanya ya ssente Fresh Kid z'akola egamba nti ku ssente omwana z'anaabanga akoze, ebitundu 20 ku 100 za kuterekebwa ku akawunti y'omwana ey'enjawulo, 20 ku 100 za taata, ebitundu 10 ku 100 zigende ewa maama Madren Namata, ebitundu ebirala 20 ku 100 za maneja ate ebitundu 30 ku 100 ezisigadde za kukola ku nzirukanya y'emirimu n'okulabira omwana.

Wano Mutabazi ebigambo byamukalidde ku matama era Dennis Katende (MC Eddy) maneja wa Fresh Kid omupya kwe kusaba minisita amusonyiwe ng'agamba kirabika Mutabazi ebya akawunti gye baamugamba teyabitegeera.

 resh id ngayimba Fresh Kid ng'ayimba.

 

Oluvannyuma bano minisita yabakwasizza bannamateeka ba minisitule baddemu okukola endagaano n'okulaba nga bye babalagidde byonna babiteeka mu nkola.

Minisita agamba nti wadde musanyufu okulaba nga Fresh Kid asoma okuva aba Kampala Parents lwe baamuwa bbasale, ensonga ze endala zikwatiddwa bubi zibaddemu vvulugu ekiyinza okuviirako omwana ono okufi irizibwa.

Gye buvuddeko Francis Kamoga eyali maneja wa Fresh Kid yagobwa oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne taata ate ne maama ne taata nabo bamaze ebbanga nga bagugulana lwa ssente za mwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...