TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Iran eyimbudde abasibe 54, 000 lwa ssennyiga we China

Iran eyimbudde abasibe 54, 000 lwa ssennyiga we China

Added 6th March 2020

OBULWADDE bwa ssennyiga w’e China obwa ‘Coronavirus’ buwaliriza gavumenti ya Iran okuyimbula abasibe 54,000 okukendeeza ku mujjuzo oguli mu makomera gwe batidde nti gugenda kuvaako obulwadde okwongera okusaasaana.

Iran lye limu ku ggwanga obulwadde bwa ssennyiga wa CoronaVirus obwava mu China gye busaasaanira ku sipiidi ey'amaanyi nga bukutte n'abamu ku banene mu gavumenti eryo omuli n'ababaka ba palamenti 23.

Bannansi ba Iran 77 be baakafa obulwadde bwa ssenyiga buno mu wiiki bbiri ate abantu abasoba mu 3,000 be baakakasiddwa nga balina ssennyiga ono atadde Iran ku bunkenke obutagambika.

Abamu ku bantu abaafudde ssennyiga ono kuliko omuwabuzi w'omukulembeze ow'omwoyo Ayatollah Ali Khamenei, Ng'oggyeeko ababaka ba palamenti 23 abaakwatiddwa obulwadde buno, abakungu ba gavumenti 15 okuli n'omumyuka wa Pulezidenti, omumyuka wa minisita w'ebyobulamu n'abalala obulwadde bwabakubye ku ndiri.

Gavumenti ya Iran yasazeewo okuyimbula abasibe bonna abali ku bibonerezo ebikka wansi w'emyaka etaano era ku Lwokusatu abasibe 54,000 baayimbuddwa oluvannyuma lw'okubakebera nga tebannakwatibwa ssennyigga ono.

Omwogezi wa minisitule ey'Ebyobulamu Kianoush Jahanpour yategeezezza nti Iran y'ensi obulwadde gye businga okusaasaanira ku sipiika ey'amaanyi ng'esinga ne China obulwadde gye bwatandikira.

Kigambibwa nti amawanga nga Afghanistan, Canada, Lebanon, Pakistan, Kuwait, Bahrain, Iraq, Oman, Qatar ne United Arab Emirates abantu abasangiddwa n'obulwadde mu mawanga ago baavudde mu Iran.

Gwo omuwendo gw'abantu abaakafa ssennyiga ono mu nsi yonna kati baweze 3,300 ate abaakakwatibwa basoba mu 95,500.

China y'esinga omuwendo gw'abantu abaakafa ssennyiga ono nga bawera 3,000 mu China yokka kyokka ng'asaasaanyidde mu mwanga mangi.

OBULWADDE bwa ssennyiga w'e

China obwa ‘Coronavirus' buwaliriza

gavumenti ya Iran okuyimbula

abasibe 54,000 okukendeeza ku

mujjuzo oguli mu makomera gwe

batidde nti gugenda kuvaako obulwadde

okwongera okusaasaana.

Iran lye limu ku ggwanga

obulwadde bwa ssennyiga

wa CoronaVirus obwava mu

China gye busaasaanira ku sipiidi

ey'amaanyi nga bukutte n'abamu

ku banene mu gavumenti eryo

omuli n'ababaka ba palamenti 23.

Bannansi ba Iran 77 be baakafa

obulwadde bwa ssenyiga buno

mu wiiki bbiri ate abantu abasoba

mu 3,000 be baakakasiddwa nga

balina ssennyiga ono atadde Iran

ku bunkenke obutagambika.

Abamu ku bantu abaafudde

ssennyiga ono kuliko omuwabuzi

w'omukulembeze ow'omwoyo

Ayatollah Ali Khamenei,

Ng'oggyeeko ababaka ba

palamenti 23 abaakwatiddwa

obulwadde buno, abakungu ba

gavumenti 15 okuli n'omumyuka

wa Pulezidenti, omumyuka wa

minisita w'ebyobulamu n'abalala

obulwadde bwabakubye ku ndiri.

Gavumenti ya Iran yasazeewo

okuyimbula abasibe bonna

abali ku bibonerezo ebikka wansi

w'emyaka etaano era ku Lwokusatu

abasibe 54,000 baayimbuddwa

oluvannyuma lw'okubakebera nga

tebannakwatibwa ssennyigga ono.

Omwogezi wa minisitule

ey'Ebyobulamu Kianoush Jahanpour

yategeezezza nti Iran y'ensi

obulwadde gye businga okusaasaanira

ku sipiika ey'amaanyi

ng'esinga ne China obulwadde gye

bwatandikira.

Kigambibwa nti amawanga nga

Afghanistan, Canada, Lebanon,

Pakistan, Kuwait, Bahrain, Iraq,

Oman, Qatar ne United Arab

Emirates abantu abasangiddwa

n'obulwadde mu mawanga ago

baavudde mu Iran.

Gwo omuwendo gw'abantu

abaakafa ssennyiga ono mu nsi

yonna kati baweze 3,300 ate

abaakakwatibwa basoba mu

95,500.

China y'esinga omuwendo

gw'abantu abaakafa ssennyiga ono

nga bawera 3,000 mu China yokka

kyokka ng'asaasaanyidde mu

mwanga mangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.