TOP

Akasattiro ku ssomero lya Gayaza High

Added 8th March 2020

Akasattiro ku ssomero lya Gayaza High

 Akasattiro akaabadde wabweru wa ggeeti ya Gayaza High School.

Akasattiro akaabadde wabweru wa ggeeti ya Gayaza High School.

KU Lwokutaano akawungeezi omuliro ogutannategeerekeka kwe gwavudde gwasaanyizzaawo ekisulo ky'abayizi ba S3 ne S4 ekimanyiddwa nga Corby ku Gayaza High School ebintu by'abayizi ne bisaanawo.

Robinah Kizito Katongole, omukulu w'essomero yategeezezza nti omuliro gwakutte ku ssaawa ng'emu ez'akawungeezi ng'abayizi bali mu bibiina basoma era tewali mwana n'omu yakosebwa, Kizito yategeezezza nti baakubidde poliisi ezikiza omuliro n'etuuka mu bwangu n'eguzikiza nga wadde we yatuukidde ng'omuliro gumaze okusaanyaawo ebimu ku bintu by'essomero.

Kizito yategeezezza nti ekisulo ekyayidde mwabadde musulamu abayizi 60 naye nga bonna tewali yafunye buvune. Oluvannyuma ng'abazadde bamaze okufuna amawulire nti omuliro gukutte ekisulo ky'abayizi badduse mangu ku ssomero naye ne babagaana okuyingira era baakonkomalidde ku ggeeti.

Abaamawulire nabo baasoose kugaanibwa kuyingira okukwata ebifaananyi. Akulira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza, AIGP Grace Akullo y'omu ku bazadde abaasoose okutuuka ku ssomero era ye yakkiriziddwa okuyingira ng'oluvannyuma yakomyewo ku ggeeti y'essomero n'ategeeza bazadde banne nti abaana bonna bali bulungi era tewali akoseddwa.

Akullo yategeezezza nti bo nga poliisi batandise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko omuliro guno.

Frederick Kiyingi Kinobe akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso naye yatuuseeko ku ssomero ekiro. Yagumizza Bannayuganda nti tewali mwana yakoseddwa okuggyako ebintu byabwe ebyayidde.

Edison Muhangi, DPC w'e Kasangati yategeezezza nti olwafunye essimu yayunguliddewo basajja be ate naye n'atuuka mu budde ekintu ekyayambye okuzikiza omuliro ne bagutangira okulanda okwokya ebisulo birala.

Muhangi yategeezezza nti kyandibeera nga omuliro gwavudde ku masannyalaze naye bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza okuzuuka ekyavuddeko omuliro.

Yasuubizza nti mu nnaku ntono bajja kuba bazudde ekyavuddeko omuliro.

ABA ZIGOTI STANDARD E MITYANA NABO BASIMATTUSE OMULIRO

Abayizzi abasoba mu kikumi be baawonye okufiira mu muliro ogwakutte ekisulo kyabwe eky'abalenzi ku ssomero lya Zigoti Stadard P/S mu ggombolola y'e Malangala mu disitulikiti y'e Mityana mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Abayizi baagambye nti baliko omusajja gwe baalabye ku mulyango ng'akoleeza omuliro n'adduka kwe kuzuukusa bannaabwe ne bafulumira mu mulyango ogw'emmanju. Omuiro gwatandise ku ssaawa nga mwenda ez'ekiro ng'abaana beebase kyokka nga waabaddewo abatunula. Abasomesa baagambye nti tewali muyizi yafunye buzibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...